TOP

Cranes empadde amaanyi - Basena

By Musasi wa Bukedde

Added 5th August 2017

“Ebiseera ebisinga entandikwa teba nnyangu wabula abazannyi be nnina bandaze nti ba njawulo.

Basena1 703x422

Basena ng’ali n’abazannyi ba Cranes e Namboole.

Bya HUSSEIN BUKENYA

August 12 mu za CHAN: Uganda - Rwamda, 10:00 OMUTINDO gw’abazannyi ba Cranes guwadde omutendesi Moses Basena essuubi n’agamba nti singa bigenda bwe biti, baakuwandulamu Rwanda, afuuke Munnayuganda asoose okutwala Cranes mu mpaka za CHAN.

Ttiimu eno ey’abaguzannyira awaka, yeetegekera kuttunka ne Rwanda nga August 12 mu St Mary’s Stadium e Kitende mu gw’oluzannya olusooka era Basena, eyalidde obutendesi buno wiiki ewedde, agamba nti ennaku ze yaakatendeka ttiimu eno ng’asikira Micho Sredojevic eyagenze mu Orlando Pirates, zimuwadde essuubi olw’omutindo abazannyi gwe baliko.

“Ebiseera ebisinga entandikwa teba nnyangu wabula abazannyi be nnina bandaze nti ba njawulo.

Buli kimu bakikolera mu budde ate nga bakolera wamu. Ng’omutendesi, kimpa amaanyi nti ebiseera byaffe eby’omu maaso bitangaavu era emipiira tujja kugiwangula,” Basena bwe yategeezezza.

Yayongeddeko nti, “Embeera eri mu nkambi terina njawulo n’eyo ebaddewo nga Micho waali era nsuubira nti tugenda kutambulira awo.”

Yasabye abazannyi okusigala ku mulamwa kuba abantu babatunuulidde nnyo okulaba ffoomu gye banaabeerako nga Micho amaze okugenda.

Mu kaseera kano, Basena essira asinze kulissa ku nneegaba y’abazannyi mu kisaawe, okutwala omupiira mu maaso mu bwangu ssaako engeri gye balina okugwa mu mipiira gy’omulabe.

Bukya Cranes ya CHAN etandika kuzannya za kusunsulamu ebadde ekwatibwamu batendesi Bazungu nga ku mulundi guno Munnayuganda Basena alina omukisa okugituusa mu mpaka z’akamalirizo ezinaabeera e Kenya omwaka ogujja.

Mu ttiimu eyawandudemu. South Sudan ku mugatte gwa (5-1), Geoffrey Sserunkuuma yekka y’ataliiwo kyokka Basena agamba nti eddibu lye yalizibye ne Muhammad Shaban (Onduparaka) ne Frank ‘Zaga’ Tumwesigye (Vipers).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Bukedde TV Live Stream

Bukedde TV Live Stream

Bk 220x290

Bukedde TV Live Stream

Laba wano Bukedde TV Live

Bukedde Tv Livestream

Bukedde Tv Livestream

Uni 220x290

RDC ayingidde mu nsonga y'omuyizi...

OFIISI ya RDC e Kalungu ne Poliisi bawaliriziddwa okuyingira mu nsonga z'omuyizi ategeerekeseeko erya Ssembuusi...

Story 220x290

Bamukubye kalifoomu ne bamuwamba...

POLIISI y'omu Bbuto ekisangibwa e Bweyogerere mu munisipaali y'e Kira eronze omuwala Joan Nagujja (32) mu kiwonvu...