TOP

Temukaabira Micho tuwonye muwone

By Musasi wa Bukedde

Added 6th August 2017

Uganda efunye omukisa gwa maanyi Micho okugenda era FUFA egukozese okutegeka ttiimu z’eggwanga n’abatendesi abatuufu buli omu abeere n’obuvunaanyizibwa akozese buli ky’alina okulaga enjawulo mu mulimu gwe.

Micho1 703x422

Micho mu kutendeka gye buvuddeko

Okugenda kw’omutendesi wa Cranes, Micho Sredojevic tekugenda kusuula ttiimu mu ntata wabula kugenda kuwa omukisa abazannyi oguwangaalako mu ttiimu y’eggwanga bafaananeko ffe abaagisambira ebbanga eggwanvu nga ne bwe tukola ensobi, baddamu ne bakuyita.

Ekibaddewo ku Micho ng’omuzannyi gw’atalinaamu ‘ssuubi’ takufaako era nga kyangu nnyo okukusuula n’ayita gw’alinamu ensonga. Ky’ova olaba ng’abazannyi nga Kizito Luwagga baava ku Cranes kuba Micho yalemwa okukkaanya nabo mu ddiiru ze.

Abadde abayisa nga bw’ayagala era abajjukira ekyaliwo ku Denis Guma eyali owa Victoria University, Micho yali amudibaze era yamala kuswala n’amukomyawo kyokka oluvannyuma n’amusuula.

Micho yajja mu Uganda emyaka 10 n’omusobyo naye mbuuliraayo omuzannyi gw’azimbye okuggyako okubayita n’okubasuula.

Atendese ttiimu nnyingi mu Afrika naye mbuulirayo mwe yali akoledde ebyewuunyo okuggyako wano mu Uganda awali ebitone ebingi.

Uganda ejjuddemu abazannyi abalungi era mu CHAN w’omwaka oguwedde, yasambisa ttiimu ssatu ez’enjawulo ekitegeeza talina ttiimu esookamu.

N’okutuusa kati, Micho abadde akyayita abazannyi ab’enjawulo ekiviirako ttiimu yaffe okukola obubi. Omutendesi ow’enkola bw’etyo, alituuka ddi ku ntikko!

Abazannyi balimanyagana ddi bakwatagane mu kisaawe!

Waliwo abazannyi nga Richard Kasagga, Said Kyeyune, Ali Kimera n’abalala, badda wa?

Uganda efunye omukisa gwa maanyi Micho okugenda era FUFA egukozese okutegeka ttiimu z’eggwanga n’abatendesi abatuufu buli omu abeere n’obuvunaanyizibwa akozese buli ky’alina okulaga enjawulo mu mulimu gwe.

Micho atuulidde nnyo ttiimu nga zonna (ey’abatasussa myaka 20 ne 23) nga teziwulikika ne zikola bubi nnyo.

Yatuuka n’okugamba nti agenda kukola pulaani y’omupiira ekitegeeza nti agenda kutegeka enkola ye gy’ayagala mu mupiira gwa Uganda nga kiraga nti Uganda terina bakugu okugitegeerera ate nga wano tulina akulira emirimu mu FUFA, akulira ebyekikugu abalina okukola emirimu egyo.

Kitegeeza nti Micho yali ayagala abeere kamalabyonna w’omupiira gwa Uganda anti y’amanyi Uganda era takyetaaga batendesi bagwira.

Abatendesi baffe basomye nnyo era bazannye omupiira ku mitendera gyonna era basobola okukola obulungi singa tubawa obudde.

Basena ne Kajoba baaweeredwa omulimu naye mu kunyoomebwa okw’ensusso kuba tewali wadde endagaano gye baataddeko omukono.

Singa baafunye muzungu, wandibaddewo endagaano.

Basena ne bwe yandifunye ya myezi 3 eraga nti aweereddwa ebbanga bwe liti, ssente bwe ziti n’obuwaayiro obulaga bwe baliremwa okukola ekiriddako.  Naye baafunye bbaluwa ebagamba nti be batendesi.

Mutunule, mujja kulaba nga Cranes tesambyeyo mupiira gwa mukwano naye nga Micho abadde agifuna.

Ssaagala Micho alimbe ggwanga nti abanja emyezi 4 (obukadde 180), olwo abadde akozesa ki?

Cranes ebadde ezannya egy’okwegezaamu gya doola 30,000 (mu za Uganda obukadde 100), lwaki FUFA ebadde tesooka kusasula Micho!

Oyiza okuwa omuntu akasiimo ate ng’akubanja!

georgesimlala@gmail.com, 0702129092

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kanta 220x290

‘Muntaase ku baana bange abanzibako...

OMUKADDE ow’emyaka 93 atabuse n’abaana be ng’abalumiriza okubeera mu kkobaane erimugoba ku ttaka lye balyeddize....

Bonnyjpgweb 220x290

Abadde ayanula engoye z'abatuuze...

Bonny Tamale omutuuze w'oku Kalerwe Kiggundu Zooni y'asimattuse okuttibwa abatuuze b'e Bwaise oluvannyuma lw’okumusanga...

Agende 220x290

Kkooti egobye egimu ku misango...

KKOOTI y’e Nakawa egobye omusango gw’obuyeekera ogwali gwaggulwa ku basajja 14 abagam- bibwa nti beenyigira mu...

Kola 220x290

Boofiisa ba poliisi Muhangi ne...

EYALI akulira ekitongole kya Flying Squad, Herbert Muhangi abadde amaze emyaka ebiri mu kkomera ng’avunaanibwa...

Na 220x290

‘Mukebere nnamba z’essimu okuzuula...

AKAKIIKO akavunaanyizibwa ku by’empuliziganya mu ggwanga aka Uganda Communication Commission (UCC) kalagidde abakozesa...