TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Aba USPA balonze Emong ku ky'omuzannyi wa July

Aba USPA balonze Emong ku ky'omuzannyi wa July

By Silvano Kibuuka

Added 7th August 2017

Bannamawulire abawandiika ag’emizannyo balonze omuddusi David Emong ku buzannyi bw’omwezi gwa July bwe yawangudde omudaali gwa zaabu mu misinde gy’ensi yonna egy’abaliko obulemu egya World Paralympics egyabadde mu kibuga London nga July 14.

Siga 703x422

DAVID Emong eyawangudde omudaali gwa Zaabu ng'annyonyola .Baabadde ku kitebe ky'abalema ekya UUDIP e Ntinda, July 27 2017. (ekif:Silvano Kibuuka)

Emong bamusiimye olw’okulinnyisa omutindo buli kiseera nga yatandikira mu mpaka ze zimu e London mu 2012 n’akwata kyakuna ate mu zaabadde mu Rio De Janeiro mu Brazil n’akwata kyakubiri okutuusa lwe yasitukidde mu zaabu ng’awangudde abadde kyampiyooni w’emisinde gino.

Avuganyiza mu mutendera gwa T46 mu mita 1500.

Emisinde gino yagiddukidde eddakiika 3:58.37 n’amegga abadde kyampiyooni Nouioua Samir owa Algeria eyaddukidde eddakiika 3:58.78.

Mu lutuula lwabwe olwa USPA-Nile Special Meeting ku Imperial Royale Hotel, Emong afunye obululu 395 ng’addiriddwa omukasusi w’olunyago Joyce Lalamu eyawangudde zaabu mu mpaka za Commonwealth Youths eyafunye obululu 275.

Omuteebi wa Cranes ne KCCA FC Paul Mucureezi akutte kyakusatu ku bululu 245 nga bamusiimye okuteeba ggoolo 4 nga Cranes ewangula South Sudan ate omuzannyi wa Woodball, Joan Mukova n’akwata kyakuna bwe yawangudde emidaali gya zaabu ebiri mu mpaka z’ensi yonna ezaabadde e Ntebe.

Abalala abasiimiddwa kwe kuli ttiimu y’abaddusi abalinnya ensozi abaawangudde zaabu ssatu ne ttiimu ya Cranes yonna olw’okugyamu South Sudan.

Mu kiseera kye kimu, pulezidenti wa USPA, Sabiiti Muwanga alangiridde nti emikolo gya USPA egy’okulwanyisa obubenje egya buli mwaka gitwaliddwa Wobulenzi mu disitulikiti ya Luwero.

Zijjuluddwa okuva nga August 26 okudda ku September 2 olwa fayinolo z’amasaza ga Buganda ezitegekeddwa nga August 26.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Abanywarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe