TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Aba Nakinsige baloopye Ekinyomo lwa kuzannyisa bacuba

Aba Nakinsige baloopye Ekinyomo lwa kuzannyisa bacuba

By Musasi wa Bukedde

Added 7th August 2017

ABEDDIRA ekika ky’Ennyonyi Nakinsinge baaloopya ekika ky'Ekinyomo mu kakiiko akaddukanya empaka z'emipiira gy'ebika bya Buganda lwa kuzannyisa bacuba abateddira muziro ogwo.

Kuba1 703x422

David Kyeyube atendeka Nakinsige

Ekinyomo kyabadde kiwangudde Nakinsige ku ggoolo 2(4)-2(3) oluvannyuma lw'okusimulagana penati mu mupiira ogwazannyiddwa ku Lwokutaano lwa wiiki.

Kino kiddiridde omutendesi wa Nakinsige, David Kyeyune okutwala okwemulugunya kwe mu kakiiko ng’agamba nti abazannyi ababiri okuli Julius Ssennyomo ne Shafiq Matovu baazannyidde mu mannya agatali gaabwe.

Kyeyune yayongeddeko nti Julius Ssennyomo amannya ge amatuufu ye Shaban Wasswa nga muyizi ku Masaka SS era mutuuze mu Nnyendo Masaka ate eyeeyise George Ssennyomo aga ddala ye Matovu Shafiq nga naye mutuuze mu Nnyendo Masaka, wabula omutendensi w’Ekinyomo; George William Ssennyomo agamba nti bano bonna bazannyi baabwe era beetegefu okwewozaako mun kakiiko.

David Kalibbala, omuwandiisi w’akakiiko akaddukanya empaka zino yategeezezza nti aba Nakinsige baamala  okuwaayo okwemulugunya kwabwe era akakiiko enkya ku Lwokubiri okuwuliriza enjuyi zombi okuzuula ani mukyamu ani mutuufu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Abamukubasuubuzingabakunganyaembiddemukifokyamatookegebattikanga 220x290

Ekirwadde ekikwata ebitooke kitiisizza...

Ekirwadde kino kisensera ekikolo ky'ekitooke era kw’omanyira nti kikwatiddwa ekirwadde kino endagala zaakyo ziwotookerera...

Abamukubasentebengabalimulukiikoenakulabye1 220x290

Bassentebe ba LC1 ne 2 bakukkulumidde...

Stephen Nsereko ssentebe w’ekibiina ekigatta bassentebe b’ebyalo n’emiruka mu Kampala yategeezeza nti gavumeti...

Omusajjangasimuulaengatozomulangiraherbertkimbugwe2 220x290

Bayiiyizza obukodyo bw’okuggya...

Abamu ku bagenyi abaabaddewo mwe mwavudde abasajja babiri abaakutte obutambaala nga buli munnabyabufuzi asituka...

Ssengalogonew 220x290

Emyezi ebiri sigenda mu nsonga...

Ndi muwala wa myaka 21. Nneegatta oluvannyuma ne ng'enda mu kalwaliro ne ngula empeke okwetangira okufuna olubuto...

Matovu002 220x290

Abasajja abanoonya embooko z'abakazi...

Twagala abakazi abeetegefu okukola obufumbo ate nga bamamyi omukwano