TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Cheptegei agaanyi okuddamu okuvuganya ne Mo Farah

Cheptegei agaanyi okuddamu okuvuganya ne Mo Farah

By Teddy Nakanjako

Added 9th August 2017

JOSHUA Cheptegei avudde mu misinde gya mmita 5,000, n'awa Omungereza Mo Farah omwagaanya okutwala omudaali gwa zaabu omulala mu mpaka z'ensi yonna eza IAAF World Championships eziyindira mu kibuga London.

Cheptegeisilverlondon2017 703x422

Cheptegei ng'ajaganya olw'okuwangula omudaali

Cheptegei agamba nti yajja mu mpaka zino ng'atunuulidde mudaali gwa mmita 10,000 nga kati si mwetegefu kuttunka mu misinde gya 5,000 kuba atunuulidde mizannyo gya Commonwealth egigenda okubeera mu Australia omwaka ogujja.

Cheptegei yawangudde omudaali gwa ffeeza mu mmita 10,000 ekyamuyisizzaawo butereevu okwetaba mu mizannyo gya Commonwealth.

"Kati ntunuulidde kuwangula midaali gya zaabu ebiri mu Commonwealth, era eno y'ejja okuba entandikwa yange okudduka emisinde egy'emirundi ebiri mu mpaka ez'omuzinzi," Cheptegei, eyasangiddwa mu wooteeri ya Gouman Tower, ttiimu ya Uganda mw'esula, bwe yategeezezza.

Kati Uganda etunuulidde abaddusi babiri; kapiteeni Stephen Kissa ne musaayimuto Jacob Kiplimo, eyawangula zaabu mu z'okwetooloola ebyalo e Kololo, era bombi bateereddwa mu kibinja ekisooka omuli Mo Farah.

Baakudduka ku ssaawa 4:00 ez'ekiro, era omutendesi Gordon Ahimbisibwe yagambye nti abalinamu essuubi.

EMMERE EBATABUDDE

Abaddusi okuva mu mawanga ag'enjawulo, naddala aga Afrika beekokkodde emmere n'obudde obunnyogovu bye bagamba nti bibalemessezza okukola nga bwe bandibadde basuubirwa.

Ku Mmande omuddusi wa Botswana abadde ateereddwaako amaaso, Isaac Makwala teyadduse bibinja bya mmita 200 ng'abasawo bagamba kyavudde ku mmere gye yalidde okumutabula olubuto.

Emmere gye basinze okwemulugunyaako y'ennyama ense gye bagamba nti eba ng'eyonoonese.

Wabula Ahimbisibwe yagambye nti eno ensonga tekosezza Bannayuganda kuba baamanyiira embeera yonna.

Ate mu nkambi ya ttiimu ya Kenya abakungu batawaanyizibwa ssennyiga, ekivudde ku mbeera y'obudde.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ras13 220x290

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako

Dit1 220x290

Obugagga bwange buli mu mbizzi...

Obugagga bwange buli mu mbizzi

Gat1 220x290

Owa LDU akubye omuntu essasi mu...

Owa LDU akubye omuntu essasi mu kumukwata