TOP
  • Home
  • Emisinde
  • Abaddusi 6 bali mu nsiike mu za IAAF e London

Abaddusi 6 bali mu nsiike mu za IAAF e London

By Teddy Nakanjako

Added 9th August 2017

OLUTALO lw'okulaba nga bafaananako Joshua Cheptegei eyawangudde omudaali gwa feeza ng'empaka za IAAF World CHAMPIONSHIPS zaakatandika abaddusi ba Ugaanda mukaaga bayingira leero ensiike okutandikako.

Index 703x422

Ttiimu eyakiikiridde Uganda mu misinde e London

Abaddusi ba mmita 5000 ez'abakazi be basookawo nga batunuulidde okwesogga fayinolo ya Ssande nga bano ye Stella Chesang ne Mercyline  Chelangat.   

Ate Winnie Nannyondo ne Dorcus Ajok abaatuuse mu kibuga London ku makya g'eggulo ku Lwokusatu obukoowu balina kubusiba ku mpagi ne balwanirira okwesogga semi za mmita 800 nga bano baakwegattibwako Halimah Naakaayi eyatuuka edda.   

Mu ngeri y'emu ne Ronald Musagala waakulwanirira semi ya mmita 1500 mu kisaawe kya Queen Elizabeth Olympic Park ekiro kya leero.

Mu kiseera kye kimu, Albert Chemutai yamalidde mu kya 10 mu fayinolo yaa mmita 3000 ezirimu okubuuka obusenge nga bw'ogwa mu mazzi. Emapak zaawanguddwa Munnakenya Conseslus Kipruto.

Ye omuddusi wa Uganda omulala eyabadde mu fayinolo, Jacob Araptany yazze mu katemba bwe yayimiridde okusiba obuguwu bw'engatto nga baakadduka mmita 1000 ku 3000 era okukakkana nga y'asembye.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Afuddebulengabyjmutebi103945 220x290

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala...

Abafumbo baziyidde mu nnyumba omukyala n'afa! Babadde basiika kabalagala

Untitled1 220x290

Omuwala namuta ng’ammenya n’olungereza...

Nze Emmanuel Nayebale nga mbeera Kitintale mu Kampala. Bwe nnali naakatandika okwegomba n’okuyingira mu nsonga...

Ssenga1 220x290

Ssenga nnina amaanyi matono

Nnina obusajja butono ate bumpi kyokka n’amaanyi matono ddaala. Ssenga nkoze ntya?

6688203923901413243725744760079814268813312n 220x290

KCCA FC lubabu!

OLWESOZZE semi z'empaka za CECAFA, omutendesi wa KCCA, Mike Mutebi, n'agumya abawagizi ng'ekikopo bwe kibali mu...

Sozo 220x290

Omusu gunoonya kyamagero

TTIIMU y'Omusu ekyazizza Embogo, ng'enoonya kukola kyafaayo ky’okukyusa obuwanguzi bwa ggoolo 6-1, ezaabakubwa...