TOP

6 bali mu nsiike

By Musasi wa Bukedde

Added 10th August 2017

OLUTALO lw'okulaba nga bafaanana Joshua Cheptegei eyawangudde omudaali gwa feeza ng'empaka za World Championship zaakatandika, abaddusi ba Uganda mukaaga bayingira leero ensiike okulwanira emidaali.

Nannyondo1 703x422

Nannyondo

Bya TEDDY NAKANJAKO

OLUTALO lw'okulaba nga bafaanana Joshua Cheptegei eyawangudde omudaali gwa feeza ng'empaka za World Championship zaakatandika, abaddusi ba Uganda mukaaga bayingira leero ensiike okulwanira emidaali.

Abaddusi ba mmita 5,000 ez'abakazi be basookawo nga batunuulidde okwesogga fayinolo ya Ssande.

Bano ye Stella Chesang ne Mercyline Chelangat.

Ate Winnie Nannyondo ne Dorcus Ajok abaatuuse mu kibuga London eggulo ku makya, obukoowu baakubusiba ku mpagi bayingire ekisaawe balwanirire okwesogga semi za mmita 800 nga bano baakwegattibwako Halimah Nakaayi eyatuuka edda.

Mu ngeri y'emu, Ronald Musagala waakulwanirira semi ya mmita 1500 mu kisaawe kya Queen Elizabeth Olympic Park ekiro kya leero.

Amalidde mu kya 10 Albert Chemutai yamalidde mu kifo kya 10 mu fayinolo ya mmita 3000 ezirimu okubuuka obusenge ng'ogwa mu mazzi nga zino zaawanguddwa Munnakenya Conseslus Kipruto.

Ate Jacob Araptany, omuddusi wa Uganda omulala eyabadde mu fayinolo zino, yabadde mu katemba bwe yayimiridde okusiba obuguwuga bw'engatto nga baakadduka mmit 1000 ku 3000 era n'akoobera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe