TOP

Uganda evuddeyo n'omudaali gumu

By Teddy Nakanjako

Added 12th August 2017

MUNNAYUGANDA Ronald Musagala adduka mmita 1,500, yasaanyizzaawo essuubi lya Uganda ery'okuwangulayo omudaali omulala mu mpaka z'emisinde ez'ensi yonna eza IAAF World Championships eziyindira mu kibuga London ekya Bungereza.

Musagala 703x422

Musagala ng'ali mu nsiike

Musagala, 25, yadduse semi za mmita 1,500 wabula n'amalira mu kifo kyamwenda era n'alemwa okwesogga fayinolo eziddukibwa enkya ku Ssande.

Nga tannawanduka, abaddusi ba Uganda abawala okwabadde Halima Nakayi ne Docus Ajok aba mmita 800, be baasoose okuwanduka.

Abaddusi bano basatu, essuubi lya Uganda eddala okuwangulayo omudaali omulala mwe lyabadde kuba be baabadde basigadde mu lwokaano wabula okuwanduka kwabwe kitegeeza nti Uganda yaakuvaayo n'omudaali gumu ogwa feeza, ogwawangulwa Joshau Cheptegei mu mmita 10,000 ng'empaka ziggulawo.

Empaka zino ziggwa leero (Ssande) nga Uganda yakiikirirwa abaddusi 20

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa...

Engeri gy’olina okwewala okuferebwa ku ttaka n’okufi irwa ebyobugagga byo

Hab1 220x290

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu...

Taata n’omwana bafudde lumu;Omu bamuziise mu ntaana ya People power omulala mu ya NRM

Kab1 220x290

Dokita eyabuze akwasizza omusawo...

Dokita eyabuze akwasizza omusawo

Broronnie1 220x290

Bro. `Ronnie Mabakai alagudde bannabyabufuzi:...

OMUSUMBA Ronnie Mabakai owa ETM Church esangibwa ku Salama Road e Makindye ne Holy City e Bwerenga azzeemu okulagula...

Komerera4webuse 220x290

Abaana bazannye okufa kwa Yesu...

Abaana bazannya olugendo lw'okufa kwa Yesu ne beewuunyisa abantu e Masajja