TOP

Ekigwo Ggumbya 'Kakongoliro' kiggulwawo nkya ku Ssande

By Musasi wa Bukedde

Added 12th August 2017

Enkya ku Ssande enkalu zigenda kunoonya obukongovvule, enkoona zinywe ng’ekigwo ggumbya kakongoliro ekya Bukedde Fa Ma Embuutikizi eky’omwaka 2017 kiggulwawo mu butongole e Lwamaggwa mu Kkooki.

Back1 703x422

Okuva ku kkono; Herbert Yawe Kabanda akulira Bukedde Fa Ma, Yasini Kazibwe owa Prestige Margarine ne Kayibanda omwana w’Effumbe mu situdiyo za Bukedde Fa Ma nga boogera ku nteekateeka z’ekigwo ekiggulwawo enkya ku Ssande

Abamegganyi b’amasaza okuli; Mawogola, Gomba, Kkooki ne Kabula abamaze ebbanga nga batendekebwa buli omu awera kusomesa munne gw’anaakwatako essomo nga bwe babanywesa enkoona ku ttaka.

Herbert Yawe Kabanda, akulira Bukedde Fa Ma yategeezezza nti ekigwo ky’omulundi guno kyanjawulo olw’ebinnonnogo ebikissiddwaamu era ng’omuntu tasaanye kukisuubwa era nga wano w’asinzidde okukubiriza abantu okweyiwa e Lwamaggwa okuva ku ssaawa 4:00 ez’oku makya.

Yayongeddeko nti ng’oggyeeko okunyumirwa abamegganyi, abantu bagenda kufuna omukisa okulaba n’okunyumyamu n’abaweereza ba Bukedde Fa Ma bonna okuli; MC Godi Godi, Ssuuna Ben, Kayibanda omwana w’Effumbe n’abalala.

Ekigwo kino kiwagiddwa kkampuni az’enjawulo okuli; aba Skin Guard, Engule (abasogozi b’omwenge), ekyokunywa kya Sting Energy Drink ne Prestige Margarine abakola ebisiigibwa ku migaati.

Okusinziira ku kitunzi wa Prestige Margarine, Yasin Kazibwe, buli lunaku lw’okumeggana, bagenda kugaba eggaali maanyi ga kifuba eri omuwanguzi w’olunaku n’ebirabo ebirala bingi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Cor 220x290

Beerumirizza okusaddaaka owabbooda...

OMUTUUZE eyasaddaakiddwa ne bamusuula mu kinnya okumpi n’ekyuma ky’omugagga Ephraim Bbosa, akwasizza abantu bana...

Tra 220x290

Eddagala lya ARV’S lisobola okulwanyisa...

OLWALEERO tewali ddagala ttuufu lyazuuliddwa okuba nga lijjanjaba obulwadde bwa COVID 19 .

Tabu 220x290

Ziizino endwadde endala ezirina...

ABANTU 44 baakakasiddwa mu Uganda nga balina ssennyiga omukambwe (coronavirus) era bajjanjabwa nga n’abalala bateekeddwa...

Ugandakampalaext19441 220x290

CORONAVIRUS: Ekitebe kya America...

GAVUMENTI ya Amerika ewadde Uganda ebyetaagisa okulwanyisa ssennyiga omukambwe.

Bada 220x290

Gavumenti etandika Lwamukaaga okugaba...

GAVUMENTI efulumizza pulaani y’okugabira abanaku emmere Pulezidenti Musevi gye yasuubizza oluvannyuma lw’okuyisa...