TOP

Uganda emalidde mu kya 45 mu z'ensi yonna

By Teddy Nakanjakko

Added 14th August 2017

Empaka z'emisinde gy'ensi yonna gyakkomekeereza ku Ssande mu kibuga London nga mu gino Uganda yakutte kifo kya 45 ng'esibagannye nee Burundi n'obubonero musanvu ku mawanga 203 ageetabye mu mpaka zino.

Cheptegei 703x422

Cheptegei (asooka ku kkono) eyawangulidde Uganda omudaali gwokka ogwa ffeeza mu mmita 10,000 ekyamuyisizzaawo butereevu okwetaba mu mizannyo gya Commonwealth.

Empaka z'emisinde gy'ensi yonna gyakomekeerezeddwa ku Ssande mu kibuga London nga mu gino Uganda yakutte kifo kya 45 ng'esibagannye ne Burundi n'obubonero musanvu ku mawanga 203 ageetabye mu mpaka zino.

Zino zaabadde mpaka za mulundi gwa 16 era Uganda mwe yasoose okutwala ekibinja ekinene eky'abaddusi 18 naye ng'ate baali 20 wabula Ĵuliet Chekwel n'azivaamu nga tannasitula olw'obuvune ate omuddusi wa marathon omu  (Alex Chesakit), omu ku baasooka okutuusa obudde teyasobola kutuuka Bungereza olwa paasipooti ye okudda ekikeerezi ng'emisinde gye giwedde.

Obubonero omusanvu Uganda bwe yakung'aanyizza bwavudde mu mudaali gwa feeza ogwawunguddwa Joshua Cheptegei mu misinde gya mmita 10000 ku lunaku olwaggulawo empaka zino ezimaze ennaku 10.

Obutafaananako mpaka ndala ku baddusi bonna 18 omu yekka ye yamalidde mu bifo omunaana ebisinziirwako okugaba obubonero ng'abaagezezzaako okubaako we batuuka ku fayinolo ya Steeplechase yabadde Albert Chemutai eyamalidde mu kifo ky'omwenda ate munne Jacob Araptany ye yakoobedde

Kati ekibiina kirina kuddayo kinoonye ngeri ki gye banaasobola okulinnyisa omutindo gw'abaddusi okwetegekera empaka eziddako ezigenda okubeera mu Doha ekya Qatar.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Grav 220x290

Mujje mbalage ekitone ly’okuyimba...

Oluvannyuma lw’emyezi ebiri ng’ali mu kutendekebwa okwa kasammeme n'okugoggola eddoboozi, Gravity Omutujju ayise...

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Banyarwanda2 220x290

Abanyarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Courtgavelscales1024683 220x290

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...