TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Omugagga Buchanan adduukiridde ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde

Omugagga Buchanan adduukiridde ttiimu y'eggwanga ey'ebikonde

By Musasi wa Bukedde

Added 15th August 2017

Omugagga Sam Buchanan adduukiridde ttiimu y’eggwanga eyebikonde ‘The Bombers’ n’enkata ya bukadde 8,480,000 zigiyambeko mu kwetegekera empaka za World Boxing Championship.

Bombersboosted3 703x422

Omugagga Sam Buchanan wakati ng'akwasa Fred Kavuma, omwogezi wa UBF ssente obukadde 6. Ku ddyo ye kapiteeni wa Bombers, Muzamir Kakande ku ddyo. Ekif: FRED KISEKKA.

BYA FRED KISEKKA

Buchanan enkata eno yagikwasizza omwogezi wa UBF, ekibiina ekitwala ebikonde mu ggwanga e Lugogo nga ku ssente zino kwabadeko okusasulira ttiimu tikiti emu ebalirirwamu obukadde 6,480,0000 ate obulala bubiri buyambe abazannyi n’abatendesi mu kutendekebwa.

Buchanan yasuubiiza n’okusasula ensimbi akakadde kamu ku buli muzannyi anaakuba tonziriranga (KO) e Girimaani n’okuwa obukadde 5 eri omuggunzi w’ebikonde anaakomawo n’omudaali ogwa zaabu.

“Kino kikyali kituuza, ndi mwetegefu okubawa ebirabo ebisinga ku buyambi bwe mpaddeyo leero singa mukola bulungi gye mulaga,” Buchanan bwe yagambye.

Mu ngeri y'emu, kkampuni ya Betway yawaddeyo ebikozesebwa eri ttiimu omwabadde emmere, amazzi, n’ebibala biyambe abazannyi mu kutendekebwa.

Abazannyi basatu okuli; Muzamir Kakande (Welter), Geofrey Kakeeto (Bantam) ne David Ayiti (Super Heavy) be bagenda okukiikirira Uganda mu mpaka zino ez’okubaawo wakati wa August 25 ne September 2.​

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dav1 220x290

Museveni beyakuzizza bambaziddwa...

Museveni beyakuzizza bambaziddwa ennyota zaabwe

Mum2 220x290

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku...

Herbert Muhangi oluyimbuddwa ku kakalu ka kkooti tewayise n'addakiika n'addamu okukwatibwa

Lab2 220x290

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa...

Eyakubwa amasasi mu kwekalakaasa alaajanye

Kab2 220x290

Ssewungu akubirizza bannaddiini...

Ssewungu akubirizza bannaddiini okuvumirira empaka

Lwa2 220x290

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo

Ogwa Lwakataka gwongezeddwayo