TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Basena agaanye abazannyi okugaya Rwanda mu gw'okudding'ana

Basena agaanye abazannyi okugaya Rwanda mu gw'okudding'ana

By Stephen Mayamba

Added 15th August 2017

OMUTENDESI wa Cranes ow’ekiseera Moses Basena agaanye abazannyi be okugaya Rwanda mu gw’okudding'ana nti omulimu gukyali munene.

Chan14 703x422

abazannyi ba Uganda cranes mu kutendekebwa e lugogo okwetegekera omupiira gw'okuddingana ne Rwanda mu z'okusunsulamu za CHAN 2018 ezigenda okubeera e Kenya omwaka ogujja. (STEPHEN MAYAMBA)

Uganda Cranes yakubye Rwanda ggoolo 3-0 mu gw’oluzannya olwasoose ku luzannya olusembayo mu z’okusunsulamu ez’empaka za Africa ez’akamalirizo ez’abaguzannyira awaka eza CHAN 2018 ezigenda okubeera e Kenya omwaka ogujja.

Ogw’okuddingana gwa ku Lwamukaaga luno nga August  19 e Kigali mu kisaawe kya Nyamirambo stadium.

Cranes yazzeemu okutendekebwa ku Mmande akawungeezi oluvannyuma lw’okuwummulamu ku Ssande era Basena agamba nti e Kigali tebagenda kwekuniza olwokuba bakulembedde ne ggoolo ssatu wabula bagenda kulumba n’okuzibira batuukirize ekirooto kyabwe okuzannya mu mpaka za CHAN ez’omulundi ogw’okuna ogw’omuddiringanwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Tip11 220x290

Laba engeri gy'osobola okufuna...

Laba engeri gy'osobola okufuna emitwalo 16 buli lunaku mu buti obukuma essigiri

Dad1 220x290

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde...

Fresh Kid,Esther ne Ezekiel bacamudde abato mu Toto Xmas Festival e Nmboole

Lip1 220x290

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi...

Abaawule balabuddwa ku bwenzi n'enguzi

Tap11 220x290

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera...

Okubeera bamuzibe tekitugaana kwekolerera

Gab1 220x290

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga...

Ssaabasumba Lwanga akyalidde Gabunga