TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Uganda bagisudde ku New Zealand ne Malawi ku za Commonwealth ez'okubaka

Uganda bagisudde ku New Zealand ne Malawi ku za Commonwealth ez'okubaka

By Stephen Mayamba

Added 16th August 2017

OBULULU bw’ebibinja bya ttiimu ezigenda okuguvanya mu mpaka z’okubaka mu mizannyo gy’amawanga agli mu luse olumu ne Bungereza egya ‘Commonwealth’ bukwatiddwa ne Uganda ne bugisuula mu kibinja kya New Zealand.

Commonwealth1 703x422

She Cranes yawangula ekya African Netball championships mu June neyitamu okuzannya mu mizannyo gya common wealth omwaka ogujja. Uganda yatereddwa mu kibinja B ne New Zealand abakwata eky'okubir mu nsi yonna.

Obululu obwakwatiddwa ku makya g’Olwokusatu nga August 16,  amawanga 12 agakulembedde mu nsengeka za International Netball federation (INF) ekibiina ekiddukanya omuzannyo gw’okubaka mu nsi yonna ezasembayo okufulumizibwa ku ntandikwa ya July ge gasengekeddwa mu bibinja bibiri nga buli kimu kya ttiimu mukaaga.

Uganda ekwata kifo 9 mu nsi yonna kye yaddamu okuva mu ky’e 13 oluvanyuma lwa She Cranes okuwangula empaka za African Netball championships mwe yakubira Malawi ekwata eky’okutaano mu nsi yonna.

Guno gwe gugenda okuba omulundi gwa Uganda ogusoose okwetaba mu mpaka zino era nga Africa egenda kukiikirirwa amawanga 3.

Ekibinja A kirimu ba kyampiyoni b’ensi yonna abakulembedde mu nsengeka za INF era abalina ekikopo kino kye bawangula mu mizannyo egali mu kibuga Glasgow ekya Scotland mu 201.

Abalala mu kibinja kuliko Jamaica, South Africa, Barbados, Fiji ne Northern Ireland.

Ekibinja B mulimu;  New Zealand abakwata eky’okubiri mu nsi yonna era abawangudde world cup y’abali wansi w’emyaka 21 eyabadde e Botswana mu July,  Bungereza, Malawi, Wales, Scotland ne Uganda.

Emizannyo gya Commonwealth Games 2018 gigenda kuyindira mu kibuga Gold Coast wakati wa Apri 4 ne 15 omwaka ogujja.

Ekibinja A                  Ekibinja B

Australia                   New Zealand

Jamaica                    England

South Africa              Malawi

Barbados                  Wales

Fiji                             Scotland

Northern Ireland        Uganda

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab2 220x290

Wali muyigiriza ow'ekisa

Wali muyigiriza ow'ekisa

Lip2 220x290

Okufa kwa Namirimu kwatufumise...

Okufa kwa Namirimu kwatufumise nga ffumu

Tip2 220x290

Bannange nze siri mulogo ebyawongo...

Bannange nze siri mulogo ebyawongo bye bintawaanya

Kid2 220x290

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga...

Ono muzeeyi omwenge aguyodde nga bijanjaalo

Got2 220x290

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale...

Abasuubuzi mu katale k’e Kitintale bali ku bunkenke