TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • Seninde asabye abayizi okukuuma empisa mu mizannyo gya FEASSSA

Seninde asabye abayizi okukuuma empisa mu mizannyo gya FEASSSA

By Stephen Mayamba

Added 16th August 2017

MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza bya Pulayimale, Rosemary Seninde akuutidde abazannyi abakiikiridde Uganda mu mpaka z’emizannyo gy’amasomero ga Ssiniya mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa egya ‘FEASSSA Games 2018’ okukuuma empisa baleme kuswaza ggwanga.

Feasssa3 703x422

Minisita omubeezi ow'ebyenjigiriza ebya pulayimale Rosemary Seninde (ow'okubiri ku kkono mu gomesi) ng'akwasa Daniel Aboku (ow'okusatu ku ddyo) kapiteeni wa ttiimu ya uganda n'omumyukawe juliet Nalukenge bendera okubasiibula mu butongole. (STEPHEN MAYAMBA)

MINISITA omubeezi ow’ebyenjigiriza bya Pulayimale, Rosemary Seninde akuutidde abazannyi abakiikiridde Uganda mu mpaka z’emizannyo gy’amasomero ga Ssiniya mu mawanga g’obuvanjuba bwa Africa egya ‘FEASSSA Games 2018’ okukuuma empisa baleme kuswaza ggwanga.

Seninde yabadde abasibuula mu butongole nga tebannayolekera disitulikiti y’ e Gulu awagenda okuyindira empaka  za ‘FEASSSA games 2017’ z’omwaka guno  wakati wa August 17 – 27.

“Tubalinamu essuubi ly’amaanyi naye ate era mbasaba temusiwuuka empisa kubanga Bannayuganda tumayiddwa okubeera n’empisa. Ne bwe muba muwangudwa temunyiiga kutuuka ku ssa lisiwuuka mpisa mbasaba.’ Bwatyo Sseninde bwe yakuutidde abayizi ng’abasiibula

Empaka za FEASSSA (Federation of East African Secondary School Sports Association) zakumala ennaku ng’abayizi battunka mu mizannyo egy’anjawulo okuli; omupiira, okubaka, ttena, ttena ow’okumeza, badminton, hockey, basketball, rugby, volleyball, emisinde n’okuwuga.

Okusinziira ku Hajji  Ali Mugagga eyakulidde akakiiko akategesi Uganda ekikiiriddwa abayizi 1080 mu ttiimu 77 mu mizannyo egy’enjawulo. Uganda yasemba okuwangula empaka zino mu 2014 mu mpaka.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Top2 220x290

Omusumba Tumusiime tayagala maka...

Omusumba Tumusiime tayagala maka galimu bizibu

Deb2 220x290

Obubonero obulaga ng’amafuta oba...

Obubonero obulaga ng’amafuta oba woyiro by’otadde mu mmotoka bikyamu

Kp2 220x290

Mubiri omunene akugobako endwadde...

Mubiri omunene akugobako endwadde

Kim2 220x290

abasawo bongedde okutangaaza ku...

abasawo bongedde okutangaaza ku kuzaala omwana asoosa ebigere

Kip3 220x290

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA...

ENSIRI : BW’OTOZITTA ZO ZE ZIKUTTA