TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Ebintu 8 Basena by'alina okutereeza mu CHAN

Ebintu 8 Basena by'alina okutereeza mu CHAN

By Musasi wa Bukedde

Added 21st August 2017

Ku Lwomukaaga, Cranes yakubiddwa Rwanda (2-0), kyokka n'eyitirawo ku mugatte gwa (3-2) okuzannya empaka za CHAN.

United 703x422

Moses Waiswa owa Uganda (ku kkono) ng'attunka ne Eric Iradukunda owa Rwanda mu gw'okudding'ana e Kigali.

Mu gwasooka e Kampala, Cranes yawangula (3-0). Okuyitawo kwafudde Basena Munnayuganda asoose okuyisaawo Cranes okugenda mu mpaka.

Emirundi esatu ttiimu gy'ezeetabyemu abatendesi abagwira; Micho Sredojevic (2014 ne 2016) ne Bobby Williamson eyagiyisaawo mu za 2011. Basena alina emyezi esatu (empaka zitandika mu January e Kenya), okukola ekyalema banne abaalemererwa okuva mu kibinja ate nga tebawanguddeeyo mupiira gwonna.

Okutuuka ku kino, bino by'alina okukola okwahhanga ttiimu kabiriiti okuli; Libya, Morocco, Mauritania, Nigeria, Ivory Coast, Equatorial Guinea, Congo, Cameroon, Kenya, Sudan, Angola ne Zambia.

Emipiira gy’omukwano

Kumpi buli mupiira Micho gw'abadde yeetegekera, abadde asooka kufunayo ttiimu n’agezesa abazannyi era yawangudde emipiira mingi ng’ayita mu nkola eno.

Kino Basena ky’alina okukola nga tannagenda Kenya. Alina okufuna ttiimu ez’omuzinzi yeegere nazo, afune ekifaananyi kya ttiimu ye ekituufu.

Okufuna ttiimu eyiye

Kibadde kituufu obutapakuka kukyusa ttiimu mu nnaku entono nga Micho yaakavaawo, kyokka kati kye kiseera Basena okufuna abazannyi abasobola okugya mu sisitiimu gy’asuubira okutambulizaako ttiimu.

Ku ttiimu y’eggwanga ey'abazannyira awaka (be beetaba mu mpaka zino), batunuulira mutindo gw’abazannyi abaliwo mu kiseera ekyo, era Basena ky’alina okukola mu kifo ky'okulowooza nti alina kukozesa abazannyi Micho be yaleseewo.

Obuwanguzi ku bugenyi

Mu mpaka zonna ezitategekeddwa ggwanga lyo, kitegeeza nti buli mupiira obeera ku bugenyi era obukodyo bukyuka okuva ku bukozesebwa awaka.

Omutindo Cranes gwe yalaga e Kitende mu gwasooka, gwali mulungi nnyo bw'ogeraageranya gwe yabaddeko e Kigali. Basena alina okukyusa obukodyo bw’oku bugenyi, awangule emipiira.

Okukyusa enzannya

Ekimu ku byakubizza Cranes, be bazannyi obwedda abasoonooka, ne kiwa bannyinimu obuvumu okubalumbirawo, okukkakkana nga mu ddakiika 18 zokka Rwanda erina ggoolo 2.

Muzamir Mutyaba, Moses Waiswa ne Shafiq Kagimu ttiimu kwe yatambulira mu gwasooka, wabula ku bugenyi kyagaanyi.

Ebisobyo okumpi ne ggoolo

Mu gwasooka, Savio Kabugo ne Bernard Muwanga baafuna kaadi za kyenvu oluvannyuma lw’okukola ebisobyo okumpi ne ggoolo, wadde Rwanda emipiira yagikubanga kibaliga.

Mu Kigali era abazannyi baakoze ebisobyo ebyandibadde byewalika mu kifo kye kimu. Bwe banaasanga abazannyi abajagujagu, esobola okubakozesa ensobi.

Abazannyi abasobola okutomera

Ggoolo ya Rwanda, Yannick Munkunzi gye yateebye mu ddakiika omunaana zokka, omupiira gwavudde mu wingi ne gusanga ng'ekisenge tekiyimiridde bulungi.

Waayise eddakiika ntono, Thierry Manzi n'atomera omutwe ogwayise ku mukwasi wa Cranes, Ismail Watenga nga tamanyi kigenda mu maaso. Basena afune abazannyi abasobola okulwanira emipiira gy'omu bbanga.

Okumatiza abazannyi obutadukka mu nkambi

Kapiteeni wa ttiimu eno, Geoffrey Sserunkuuma, Mohammed Shaban, Fahad Toha, Timothy Awany ne Savio Kabugo baavudde mu nkambi ne bagenda okugezesebwa, ekintu ekyayonoonye enteekateeka ya Basena. Okwewala kino Basena alina okwogeranga n'abazannyi ku bukulu bw'omupiira n'empaka ze baba beetegekera.

Okufuna namuziga wa ttiimu

Moses Waiswa, Muzamir Mutyaba ne Paul Mucureezi mu mipiira ebiri (South Sudan ne Rwanda gyombi egy'awaka) baali ba mutawaana nnyo, kyokka ku bugenyi baazikidde.

Basena azimbe omuntu asobola okutambulirwako ttiimu nga taliiko mipiira gy'awaka oba ku bugenyi.

E Rwanda, Mutyaba ne Waiswa baggyiddwaamu nga bigaanyi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

6 220x290

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu...

Yiga bwe bafumba enkoko erimu enniimu

Omumyuka 220x290

Pulezidenti Museveni teyeeyibaala...

OMUBAKA wa Busiro East mu palamenti, Medard Lubega Sseggona ategeezezza Pulezidenti Museveni nti teyeeyibaala nti,...

Kutte1 220x290

Nakibinge akunyizza Haruna Kitooke...

JJAJJA w’Obusiraamu, Omulangira Kassim Nakibinge, Omulangira Kakungulu Kalifaani, Sheikh Nuuhu Muzaata ne bamaseeka...

And 220x290

Tondaba akanyiriro embeera mbi...

HARUNA alombojjedde Sipapa ebizibu by’ensimbi byatubiddemu olw’okwenyigira mu by’obufuzi.

7900135314007387300859518542802200714280960n 220x290

Gravity Omutujju amaze n’alaga...

KYADDAAKI Gravity Omutujju alaze mukyala we mu lujjudde n’ategeeza nga bwe bagenda okwanjula mu January wa 2020...