TOP

Basena akomyawo Luwagga Kizito

By Hussein Bukenya

Added 22nd August 2017

“Buli muzannyi ali ku ffoomu emuweesa ku Cranes, ng’enda kumuwa omukisa nga ne Luwagga mw’ali.

Cranes1 703x422

Bya HUSSEIN BUKENYA

August 31 mu za World Cup: Uganda - Misiri e Namboole Ebisale; 30,000/-, 70,000/, ne 150,000/- OMUTENDESI wa Cranes, Moses Basena atandise okubaga ku nteekateeka z’okuwangula Misiri.

Enkya (Lwakusatu) lw’asuubirwa okulangirira ttiimu gy’agenda okuzannyisa omupiira guno mu z’okusunsulamu abalyetaba mu World Cup ya 2018 e Russia.

Mu bazannyi Basena b’asuubira okuyita, ye muwuwuttanyi Kizito Luwagga eyatabuka n’eyali mukama we ku Cranes, Micho Sredojevic bwe baali mu mpaka z’Afrika ezaali e Gabon.

Oluvannyuma lw’empaka zino, Micho yategeeza nga bw’atayinza kuddamu kuyita Luwagga ku Cranes okutuusa nga yeetondedde bazannyi banne ku Cranes.

Luwagga yagaana okukwata Micho mu ngalo bwe yamuggyaamu ku mupiira gwa Mali mu z’Afrika, Micho kye yalaba ng’okumuyisaamu amaaso ne ttiimu yonna okutwalira awamu.

Wabula ne Luwagga yali yategeeza nga bw’atagenda kuddamu kuzannyira Cranes ng’eri wansi wa Micho.

Ensonda zaategeezezza nti Basena n’omumyuka we, Fred Kajoba batunuulidde omutindo gwa Luwagga nga mulungi nnyo nga tebayinza kumuleka bbali bwe batyo ne bakkaanya ku ky’okumulowoozaako ku ttiimu eneezannya Misiri.

Emipiira 3, Cranes gy’esembye okuzannya (Kenya ne Senegal egy’omukwano ne Cape Verde mu z’Afrika) Micho tayise Luwagga.

Bukedde bwe yabuuzizza Basena eky’okukomyawo Luwagga agambibwa okuyisa mu eyali mukama waabwe amaaso, yagambye nti mu kaseera kano atunuulidde bitwala Cranes mu maaso era ttiimu agenda kugironda ng’asinziira ku mutindo gwa muzannyi sso si ani yasobya ani.

“Buli muzannyi ali ku ffoomu emuweesa ku Cranes, ng’enda kumuwa omukisa nga ne Luwagga mw’ali.

Akaseera kano, twagala ttiimu kukola bulungi ekitegeeza nti tulina kusala magezi agatwongera mu maaso okusinga okutunuulira ebyayita,” Basena bwe yategeezezza.

Luwagga azannyira mu Poli Lasi ey’ekibinja kya babinywera e Romania era emipiira etaano gye yaakazannya alinamu ggoolo 1.

Ng’oggyeeko Luwagga, abazannyi okuli; Denis Guma, Tony Mawejje, Geoffrey ‘Baba’ Kizito ne Moses Oloya, Micho yabasuula ku gwa Cape Verde ng’agamba nti tasobola kuyita bazannyi batalina ttiimu kyokka Basena agamba nabo balina omukisa okuyitibwa.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Ju1 220x290

Laba ekyabadde ku Introduction...

Laba ekyabadde ku Introduction Shower ya Julie Angume n'erinnya eppya omwami we lye yamuwadde

Bobiwine4e1575702705296 220x290

Engule Bobi Wine gye yawangudde...

ENGULE Bobi Wine gye yafunye ey’omuntu asinze okulwanirira eddembe lyobuntu mu Afrika esuubirwa okumwongerako ku...

Kubayo 220x290

Basse omulaalo ne bamuziika ne...

ABATEMU balumbye amaka g’omusuubuzi e Kajjansi ne bawamba omulaalo. Baamututte ku lusozi e Kajjansi okumpi ne Nakigalala...

Kiwalabyeweb 220x290

Kiwalabye awangudde Omutanzania...

Frank Kiwalabye oluwangudde omusipi gwa Africa n'alangirira bwakolerera ogw'e nsi yonna

Ndiko 220x290

Muwala wa Nyombi Thembo asaliddwaako...

FAMIRE ya Nyombi Thembo eyita mu kaseera kazibu oluvannyuma lw’abaana baabwe babiri okugwa ku kabenje.