TOP

The Bombers egenze tewera

By Musasi wa Bukedde

Added 22nd August 2017

TTIIMU y’eggwanga ey'ebikonde ‘The Bombers’, efuuyirira kanywe ereme kugobwa mu mpaka za 'World Boxing Championships' olw'okugenda nga tetuukirizza bisaanyizo.

Bombers 703x422

Muramagi (ku kkono) ne Galiwango (amuddiridde), nga bakwasa kapiteeni wa The Bombers, Kakande bendera

Bya Fred Kisekka

TTIIMU y’eggwanga ey'ebikonde ‘The Bombers’, efuuyirira kanywe ereme kugobwa mu mpaka za 'World Boxing Championships' olw'okugenda nga tetuukirizza bisaanyizo.

The Bombers yasitudde eggulo, okwolekera ekibuga Hamburg mu Girimaani ewagenda okuyindira empaka wakati wa August 25 ne September 3, kyokka nga tetuukirizza bisaanyizo ekibiina kya AIBA, ekitwala ebikonde mu nsi yonna, bye kyassaawo.

AIBA yalagira buli ttiimu egenda mu mpaka zino, ng'erina abazannyi abali wakati w'omu n'abasatu, okutwala abatendesi bana, omukungu ku lukiiko lw'ekibiina olufuzi, maneja wa wamu n'omusawo.

Uganda eyakiikiriddwa Muzamir Kakande (welter), David Ayiti (Super Heavy) ne Geoffrey Kakeeto (Bantam), yabadde erina okugenda n'ekibinja ky'abantu 11, kyokka yafunyeeko tikiti mukaaga zokka. Bwetyo yatutte abazannyi, abatendesi babiri (Patrick Lihanda ne Tonny Ssekabira) wamu n'omwogezi w'ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga, Fred Kavuma, eyagenze nga maneja.

Ku Lwokutaano, ssaabawandiisi wa NCS, Nicholas Muramagi ne Zubair Galiwango eyakiikiridde Ssentebe w'akakiiko kano, Bosco Onyik, baasiibudde ttiimu mu butongole ne bagiwa bendera y'eggwanga ne bakuutira abazannyi okwekkiririzaamu basobole okuwangula emidaali.

‘The Bombers’ yasembye okwetaba mu mpaka zino mu 2015 e Qatar era ku mulundi ogwo, Rodgers Ssemitala, Hassan Abdul ne Fazil Juma be baakiika.

Ayub Kalule (zaabu) ne Joseph Nsubuga (kikomo) be bokka abaali bawangulidde Uganda emidaali mu mpaka zino mu 1974 e Cuba.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe