
Moses Basena atendeka Cranes nga yeetegereza abazannyi mu kutendekebwa e lugogo okwetegekera omupiira gw'okuddingana ne Rwanda mu z'okusunsulamu za CHAN 2018 ezigenda okubeera e Kenya omwaka ogujja. (STEPHEN MAYAMBA)
Leero mu Cranes Regional Tour;
North East Select - Cranes
August 31 mu za World Cup;
Uganda - Misiri e Namboole
Omupiira guno, omutendesi Moses Basena gw’asuubirwa okugeserezaamu abazannyi be ng’agenderera okufuna ttiimu esooka ennettunka ne Misiri ku Lwakuna lwa wiiki ejja mu gusunsula abalizannya World Cup y’e Russia.
Enkola eno ey’okutambuza Cranes mu bitundu by’eggwanga eby’enjawolo eyitibwa (Cranes Regional Tour) era emipiira gizze gizanyibwa mu bitundu eby’enjawulo.
Basena, yategeezezza nti wadde omupiira guno gutwalibwa ng’omutono, gwakumuyamba nnyo okwetegereza enzannya y’abazannyi b’agenda okwongereza ku bapulo be yayise ku Misiri.
“Ttiimu tuzimba nzimbe ekitegeeza nti buli mupiira gwe tufuna tulina okugukozesa obulungi nga twetegereza abazannyi be tussa mu ttiimu etandika ku Misiri kuba tetulina budde bulala.
Gugenda kuba gwa mukwano kyokka ffe tugutwala ng’ogw’okufa n’okuwona kuba twetaaga buwanguzi,” Basena bwe yategeezezza.
Enkya (Ssande) Ibrahim Sekaggya eyayitiddwa okuyamba ku Basena okutendeka ttiimu, lw’asuubirwa okutuuka mu ggwanga okubaga ku kaweefube wa ttiimu eno okuwangula Misiri.
Sekaggya y’omu ku batendesi ba New York Red Bulls eya Amerika.
Mu ngeri y’emu, bapulo okuli kapiteeni, Denis Onyango, Ivan Ntege, Joseph Ochaya ne Isaac Isinde baatuuse ggulo (Lwakutaano).