TOP

Kiggwa leero: Mayweather ne McGregor ani amegga munne?

By Musasi wa Bukedde

Added 26th August 2017

KU Ssande nga bukya, omuwanguzi w'ekikonde ky'omwaka wakati wa Floyd Mayweather ne Conor McGregor lw'amanyika.

Mayweathermcgregorbinte2 703x422

Floyd Mayweather ne Conor McGregor nga beepima eryanyi

KU Ssande nga bukya, omuwanguzi w'ekikonde ky'omwaka wakati wa Floyd Mayweather ne Conor McGregor lw'amanyika.

Ekikonde kino tekikomye kwogeza bagenda kukizannya bikankana, wabula n'abawagizi bakyesunze nga buli ludda, luwaga nga bwe lugenda okulaga lunnaalwo essomo.

Kyakunyumira mu kibangirizi kya T-Mobile mu kibuga Las Vegas eky'Amerika wabula ne ku ntimbe za ttivvi okwetooloola ensi yonna, kyakulagibwa.

McGregor yavudde mu kigwo ekizungu nga yeepikira Mayweather era ky'ekikonde kya pulofeesono ky'agenda okusooka okuzannya.

Waakuyingira emiguwa nga buli muntu amaaso agamwegese okulaba oba asobola okumenya likodi ya Mayweather ey'ennwaana 49 gye yamala nga takubiddwaamu.

SITAYIRO ZE BAKUBIRAMU

Mayweather ebikonde yabinnyuka mu 2015 era McGregor ye yamusoyaasoya okubiddira.

Yagenda okunnyuka, ng'ali ku nnwaana 49 z'ataakubwamu.

Akubira mu sitayiro y'okuzibira era entambula ye ng'ali mu miguwa y'emu ku zaamuwanguza ennwaana ezimu.

McGregor ye kyampiyoni w'ekigwo ekizungu mu buzito bwa light era abaalwanako naye mu muzannyo guno bamumanyiiko nsambaggere ez'amaanyi z'akusuka ng'ali mu miguwa n'okulumba omulabe nga tatya.

Mu nnwaana 24 ez'ekigwo ekizungu ky'abaddemu, McGregor awanguddeko 21 nga 18 za 'tonziriringa' ate ne bamukuba 3.

Nzaalwa y'e Ireland nga wa myaka 28.

Waakuttunka ne Mayweather, ow'emyaka 40 ng'asibuka Amerika.

MU GYE BASEMBYEYO OKUZANNYA

Mayweather yasembayo kuttunka ne Andre Berto gwe yawangula.

Olulwana lwatuuka mu laawundi eyoomwenda, Maywetaher n'afuna obuvune mu mukono ogwa kkono era ng'ebikonde bya Berto abyewala bwewazi.

Laawundi 12 bwe zaggwa, abalamuzi ne basalawo nti Mayweather awangudde.

McGregor yasembyeyo kuzannya Eddie Alvarez mu November w'omwaka oguwedde gwe n'awangula mu buzito bwa Light.

Olulwana luno bwe lwaggwa, n'alangirira nga bw'atagenda kuddamu kuzannya kigwo okutuusa nga mukazi we amaze okusumulukuka.

Wabula ate bwe yasumulukuka, n'atandika okuperereza Mayweather akomewo mu miguwa battunke.

AMAANYI GAABWE

Mayweather ebikonde ebiruddemu.

Abimazeemu emyaka 21 kuba yatandika okuzannya ebya pulofeesono mu 1996.

Mukugu mu kwewoma eηηuumi era abakugu mu bikonde bagamba nti ebigere bye binywera bulungi wansi, okuwumiza omulabe ekikonde ng'afunye omukisa.

Akooya omulabe ng'amunoonya okumuggunda era gye biggweera, ng'obubonero bwa baddiifi ri bwe busazeewo omuwanguzi kuba Mayweather tatera kukuba kikonde kya 'tonziriranga'.

McGregor akozesa mukono gwa kkono ate ng'abakubi abakozesa omukono guno, batera okutawaanya Mayweather.

Ng'oggyeeko ekyo, akasuka ekikonde ekizito era abalabye ku nnwaana ze mu kigwo ekizungu, bagamba nti nga kyakwasizza omuntu, tekimuleka kye kimu.

ENSIMBI ZE BANAAFUNA

Ensonda ziraga nti Mayweather waakufuna obukadde bwa pawundi 78 ate McGregor waakufuna pawundi obukadde 62.

Ng'oggyeeko ezo, ensimbi ez'okusooloozebwa ku miryango n'abanaalabira ku ttivvi ze banaasasula era baakubagabanyizaako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...