TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Mayweather aggunze McGregor tonziriranga n'amumala amampaati

Mayweather aggunze McGregor tonziriranga n'amumala amampaati

By Musasi wa Bukedde

Added 27th August 2017

Omukubi w’enguumi Flyod Mayweather Junior enkya ya leero mu Amerika alaze nga bw’akyali nnantameggwa waazo mu nsi yonna bw’awangudde oluzannya lwe olwa 50 nga tawanguddwamu.

439a00d0000005784826896imagea2641503813048844 703x422

Mayweather ng'atwalidde McGreggor eng'uumi musoso ndaggu eyamunnyudde

Omukubi w’enguumi Flyod Mayweather Junior enkya ya leero mu Amerika alaze nga bw’akyali nnantameggwa waazo mu nsi yonna bw’awangudde oluzannya lwe olwa 50 nga tawanguddwamu.

Mayweather akubye Conor McGregor enzaalwa ya Irenald mu lukontana olw'e 10 ddiifiri Robert Byrd n’abiyimiriza nga Conor bamuttira mu miguwa.

Bibadde mu T-Mobile Arena mu kibuga Las Vegas.

Abawagizi ba Mayweather basoose kunnyogoga, McGregor bw’asoose okuwangula enkontana ebbiri ezosoose wabula Mayweather n’ategeeza oluvannyuma nti yabadde asoose kumuleka ayige obukodyo bwe wamu n’okumanya amaanyi ge n'obunafu bwe gattako okumukooya.

Atandise okulaga abawagizi kiki kyalinawo mu lukontana olwomukaaga n’okweyongerayo okutuusa mu lw'e 10 ng’akenenye endusu  Mc Grogor n’atandika okusaba ddiirifi abiyimirize.

Mayweather asitukidde mu kavu wa million za doola 200 ate McGrogor n’afuna 100 wabula.

McGrogor akkirizza nti ddala akubiddwa era n’atenda obukodyo bwa Mayweather.

Mayweather ku luno alayidde nti tajja kuddamu kuzannya bikonde naddala nga bino yabizannye kukakasa bantu abataamatira bwe yalwana be Manny Pacquiao nga baagamba nti baasaliriza.

Abantu mu mawanga mangi baasuze mu mabbaala gye balabidde ebikonde bino ebyalangiriddwa nti bizannyibwa kiro.

Wano mu Uganda bizannyiddwa ku ssaawa emu ey'oku makya.

Mayweather alangiridde nti awummudde ebikonde oluvannyuma lw’okuwangula oluzannya olwa 50 nga takubiddwamu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uni 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA AKULEETEDDE...

Bobi Wine olusimbudde okuva mu Amerika, abawagizi be ne batandikirawo okujeemera poliisi. Amagye gakutte owa Flying...

Abanywarwanda basabye Kabaka ettaka,...

ABANYARWANDA ababeera mu Uganda basabye Kabaka asiime abawe ettaka Ssekabaka Muteesa II lyeyali abawadde e Kibuye...

Fortunessentamu2 220x290

Abagwira 6 bakuvuganya ne Bannayuganda...

Laawundi y'empaka za ddigi eyoomukaaga ku kalenda ya Uganda yakwetabwaamu abagwira 6.

Kkooti zonna zaakujjukira Benedicto...

Mu 1972 abajaasi ba Amin baalumba Benedicto Kiwanuka mu ofiisi ye ku Kkooti Enkulu ne bamuwalawala mu kifo ekitaategeerekeka...

Omwanangasenaamazzikuluzziwebusemwana 220x290

Ab'e Birinzi balindiridde kulwala...

Kaabuyonjo ze tusima mu musenyu okw'enkuba zibooga kazambi n'ajjula enju zaffe