TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Abawagizi beezoobye n'omuwuubi w'ekitambaala omupiira ne guyiika

Abawagizi beezoobye n'omuwuubi w'ekitambaala omupiira ne guyiika

By Musasi wa Bukedde

Added 28th August 2017

EKIKONDE kata kinyooke wakati w’omuwuubi w’ekitambaala n’abawagizi ba Juba Boys Fc ekiviiriddeko omupiira okuyiika.

Juba5 703x422

BYA JOSEPH ZZIWA

Juba Boys FC 1-1 St. Pius FC

Omuwuubi w’ekiwero, Alex Wasswa ye yavudde mu mbeera n'alumba abawagizi ba Juba Boys olw’agagambo g'obuwemu bakira ge bamuvuma, ekyamuwalirizza okubakanyugira amayinja nabo ne bagamuddiza.

Omu ku bawagizi yalabye embeera etabuse n'akwata Wasswa n'amuvumbagira okumutangira obutalumba bawagizi era gye byaggweeredde nga yeekandazze n'afuluma ekisaawe ng’agamba akooye ejjoogo ly'abawagizi.

Oluvannyuma lw’eddakiika 10 omupiira gwazzeemu wabula n'akataayi tekaasaze omupiira ne guddamu okucankalana ng'etambwe ku luno eva ku muzannyi wa St. Pius eyakwatidde mu ntabwe ddiifiri Simon Ssenkeezi n'agaba peneti olwo Pius Raymond Atuyambe eyakutte n'awakanya okusalawo kwa ddifiiri era n'amwambalira bibabugume!.

Ddiifiri yalabye embeera etabuse naye ne yeekandagga n'afuluma ekisaawe wadde nga penati yabadde emaze okusimulwa nga guli 1-1.

Baabadde mu mapaka za Semuko Cup ezizannyibwa ku kisaawe kya Masajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Easy 220x290

Ebireetedde abaagalana okutya okusiba...

OMUWENDO gw’abaagalana abatya okukola embaga gulinnye ebitundu 60 ku buli kikumi okuva mu 2002 okutuuka kati.

Napolivsliverpool1 220x290

Liverpool ne Napoli zeewulira amaanyi...

Ancelotti, atendeka Napoli agamba nti Liverpool temutiisa.

Nagiriinya1nu 220x290

Eyaliko yaaya wa Nagirinya bamukutte...

ABEEBYOKWERINDA bongedde amaanyi mu kunoonyereza ku batemu abaawamba oluvannyuma ne batta omuwala Maria Nagirinya....

Shecraneswebnew 220x290

She Cranes yeetegekera za Afrika...

Ttiimu y'eggwanga eya She Cranes etandise okwetegekera empaka za Afrika ezitandika omwezi ogujja e South Afrika...

Do 220x290

Poliisi erondoola aba boda 2 abaamanya...

ABAVUNAANIBWA okuwamba n’okutta Maria Nagirinya ne Ronald Kitayimbwa poliisi ebatutte ew’omusawo okubeekebejja...