TOP

Ttiimu y'ebikonde eri mu kattu e Girimaani

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2017

TTIIMU y’eggwanga ey'ebikonde ‘The Bombers’, etuuyana lwa bukadde 16, ezigibanjibwa wooteeri gy'ebadde esuzibwa mu mpaka za World Boxing Championships eziyindira mu kibuga Hamburg e Girimaani.

Wb3703422 703x422

Ttiimu ya Bombers

The Bombers yawanduse mu mpaka zino oluvannyuma lwa Muzamir Kakande ne Geoffrey Kakeeto okukubwa ne beegatta ku David Ayiti, eyagaanibwa okuzeetabamu.

Ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu nsi yonna (AIBA), kigamba nti Ayiti alina okumala emyezi esatu nga tazannya bikonde kuba yakubwa 'tonziriranga' ku fayinolo y’empaka z’Afrika ezaali e Congo Brazzaville gye buvuddeko.

Omwogezi w'ekibiina ekitwala omuzannyo guno mu ggwanga, Fred Kavuma eyagenda nga maneja, yagambye nti baalina okusasula ‘Hyperion Hotel’ obukadde 23, kyokka NCS akakiiko akatwala emizannyo mu ggwanga kaabawaako 5,900,000/-.

“Tetukyalina kye tukola Girimaani kubanga ttiimu yawanduse, naye tulina kusooka kusasula bbanja lya wooteeri," Kavuma bwe yagambye.

Yannyonnyodde nti baali beekwata ennaku 13 okusuzibwa ku wooteeri eno, era AIBA egamba nti kibakakatako okuzisasulira zonna kuba baazisubya abantu abalala abandizeeyambisizza.

Tom Pule, omumyuka w’akulira eby’ensimbi mu NCS, yagambye nti ensonga za The Bombers bazimanyi era bazikolako.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

BUKEDDE W’OLWOMUKAAGA YAFULUMYE...

Tukulaze ebiri mu bubaka bwa Kabaka obwa Paasika, bw’avuddeyo ku balina obuyinza abasengula abantu ku ttaka.

Siiba 220x290

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't...

Abeekalakaasi e Sudan balaze Gav't gye baagala

Langa 220x290

Baganda ba Bashir nabo babakutte...

Bannamagye abaawambye obuyinza e Sudan bakutte baganda ba Omar al-Bashir babiri abagambibwa nti b’abadde akozesa...

Namirembe1omulabiriziluwalirakityongakulembeddeabakrisitaayookutambuzakkubolyamusalabaa 220x290

Tekinologiya aleme kubeerabiza...

Tekinologiya aleme kubeerabiza Katonda - Bp. Kityo Luwalira

Katwe5 220x290

Dokita w’eddwaaliro lya IHK talabikako...

DOKITA mu ddwaaliro lya International Hospital Kampala (IHK) abuze mu ngeri etategeerekeka ekivuddeko akasattiro...