TOP

Ab'essaza ly'e Gomba bakyabinuka masejjere!

By Musasi wa Bukedde

Added 29th August 2017

TTIIMU y’essaza ly'e Gomba ecankalanyizza ebyalo eby'enjawulo abazannyi bwe baabadde bayanjula ekikopo kye baawangudde mu mipiira g'Amasaza ku Lwomukaaga.

Panda 703x422

Bannagomba nga baaniriza abazannyi baabwe.

Gomba yakubye Ssingo ggoolo 1-0 ku Lwomukaaga.

Abazannyi baasimbudde okuva e Kampala ku Ssande nga bakulembeddwa mmotoka ya poliisi eyabadde ekuba obugombe, okutuuka ku nsalo ebaawula ne Butambala.

Wano kapiteeni, Edward Staro ne banne kwe kuwanika ekikopo nga bakiraga abaabalinze ku kkubo, ng'eno bodaboda bwe zikola obujogoli.

E Kanoni baayaniriziddwa ababaka Slyvia Nayebare (Gomba - Bakazi), Robinah Rwakoojo (Gomba West), bba Sam Rwakoojo, n'abantu abalala.

Ku ssaawa 3:00 ez'ekiro baamalirizza okutambula mu byalo eby'enjawulo, ne bakuhhaanira e Maddu, endongo we yasindogomedde okutuuka ku makya.

Nayebare yabawadde sseddume w'ente, Rwakoojo 5,000,000/-, n'abantu ssekinnoomu ne bawaayo ente ne ssente enkalu okuyozaayoza ttiimu okubatuusa ku kyafaayo.

Gomba ye ttiimu yokka eyali ewangudde ekikopo ky'Amasaza ga Buganda emirundi ena.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sak1 220x290

Gavumenti ekakasizza enkolagana...

Gavumenti ekakasizza enkolagana yaayo n'ekitongole kya SASAKAWA okutumbula eby'obulimi

Kig13 220x290

Robert Ssekweyama alangiriddwa...

Robert Ssekweyama alangiriddwa ku butendesi bwa Kiraabu ya Doves

Ras13 220x290

Ekyabadde e Bugembe nga Bebe Cool...

Laba ekyabadde ku kisaawe e Bugembe Bebe Cool n'abakungu ba ministry ya Health gye baamaze olunaku lulamba nga...

Sat13 220x290

Pass PLE addamu mu February

Pass PLE addamu mu February

Soz1 220x290

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba...

UNEB eraze ebintu 7 ebyasudde aba P7 ebyetaaga okukolako