TOP

Cranes ne Misiri bali butoola leero e Namboole

By Musasi wa Bukedde

Added 31st August 2017

EMIRUNDI 16 egisembyeyo nga Cranes esisinkanye Misiri mu mpaka zonna, tewanguddeko n'ogumu.

Embeera1 703x422

Abazannyi ba Misiri; Mohamed Salah (ku kkono) ne munne mu kutendekebwa.

Leero mu za World Cup

Uganda - Misiri e Namboole (10:00)

Ebisale: 30,000/-, 70,000/- ne 150,000/-

Bazzeemu okusisinkana leero mu kisaawe e Namboole ng’omutendesi wa Cranes, Moses Basena awera okumalawo ejjoogo lino.

Cranes ne Misiri, battunka mu za kusunsulamu abalyetaba mu World Cup y’e Russia omwaka ogujja.

Misiri y’ekulembedde ekibinja ‘E’ n’obubnero 6 ate Cranes yaakubiri n’obubonero 4 nga bombi baagala buwanguzi okutangaaza emikisa egigenda e Russia.

Cranes, yasemba okuwangula Misiri mu 1965 bwe yagikuba ggoolo 5-1 wabula Basena agamba nti ku mulundi guno agenda kugiyungulira ttiimu eneemalawo ejjoogo ly’Abawalabu bano abayingize Iddi nga banyogovu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20191213at212901copy 220x290

Balaze waaka ku mpaka z'emisono...

Balaze waaka ku mukolo gw'okwolesa emisono ogwategekeddwa Abraynz ku Serena Hotel mu Kampala

Steelandtubebyjmutebi2 220x290

'Abakozi mukomye okwemulugunya'...

FAAZA Raymond Kalanzi ow’e kiggo ky’e Kiwamirembe alabudde abakozi abasiiba ku mirimu yonna gye bali nga beemulugunya...

Fanda1 220x290

Eyasuulawo mukyala we emyaka 25...

SSEMAKA eyasuulawo mukyala we ng’afunye omulala akomyewo oluvannyuma lw’emyaka 25 n’amukuba empeta.

Bba 220x290

Kkamera ziraze eyabbye emmotoka...

KKAMERA za poliisi zikutte omusajja omulala ng’abba emmotoka eyabadde esimbiddwa okumpi n’eddwaaliro ly’e Mulago....

Tamalemirundi 220x290

Tamale Mirundi agobye abamulambula...

Mikwano gya Tamale Mirundi betwayogeddeko nabo baategeezezza nti obulwadde Tamale bwamwetamizza abantu era mu bamu...