TOP

KCCA yeegasse ku USPA

By Silvano Kibuuka

Added 31st August 2017

Abasambi ba KCCA FC beegasse ku bannamawulire abasaka ag’emizannyo abeegattira mu kibiina kya USPA, mu kampeyini y’okulwanyisa obubenje ku nguudo.

Uspakccafckamwokya3 703x422

Omumyuka wa kiraabu ya KCCA FC Habib Kavuma ng'akwasa abavuzi ba Boda Boda obukoodti obutangaala ekiro mu kampeyini y'okulwanyisa obubenje nga beegasse ku USPA. (ekif:Silvano Kibuuka)

Baabadde ku siteegi za bodaboda e Kamwokya gye baagabidde obupande okuli obubonero bw’oku nguudo, ng’abasinga babadde tebabumanyi era n’abamu ne bafuna obukooti obwaka (Reflector Jackets).

Omumyuka wa kapiteeni wa KCCA FC, Habib Kavuma ne Gloria Naava, omukwanaganya wa kiraabu n’ekitongole kya KCCA, be baakulembeddemu bannaabwe okwogerako eri abavuzi ba bodaboda e Kamwokya.

“Kibadde kitukakatako okwogera n’aba bodaboda kuba balina okusooka okufa ku bulamu bwabwe nga tebannavuga basaabaze,” Kavuma bwe yategeezezza.

Ye Naava akubirizza aba bodaboda okusoma obubonero bw’oku nguudo, obutavuga ndiima ate n’asaba ne Poliisi y’ebidduka kukolaganira awamu ne KCCA basobole okussa obubonero buno ku siteegi za bodaboda ne mu paaka za takisi, abavuzi basobole okubusomanga buli kaseera.

Bino bye bimu ku bikujjuko bya USPA ebikuzibwa buli mwaka okujjukira bannabyamizannyo abaafiira mu kabeje e Lugazi mu 2001.

Bano kuliko; Kenneth Matovu, Leo Kabunga, Francis Batte ne Simon Peter Ekarot.

Pulezidenti wa USPA, Sabiiti Muwanga, yagambye nti omulamwa gw’omwaka guno guli, ‘Manya nti Sipiidi Etta’.

Kaweefube akomekkerezebwa ku Lwomukaaga e Wobulenzi mu Luweero.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Img0317webuse 220x290

Obuwempe bw’oku mmeeza mwe nzudde...

Okuluka obuwempe bw'oku mmeeza mwe nazuula omukisa gw'okukola ssente

Aktalewebuse 220x290

Ab'e Kamuli bakaaba lwa mbeera...

Embeera y'akatale ne ppaaka y'e Kamuli bitulemesezza okukola ssente

Isaakwebuse333 220x290

Ensonga lwaki tolina kufumbira...

Ekivaako abantu okufiira mu nnyumba mwe bafumbira

Aging1 220x290

Ebyange ne Grace Khan bya ddala...

ABABADDE balowooza nti Kojja Kitonsa n’omuyimbi Grace Khan bali ku bubadi muwulire bino.

Anyagatangadaabirizaemupikizabakasitomabewebuse 220x290

Okukanika kumponyezza okukemebwa...

Okukola obwamakanika kinnyambye okwebeezaawo n'okuwona okukemebwa abasajja olwa ssente