Baabadde baakasisinkana emirundi 17 okuva lwe yagikuba nga Cranes terinaamu buwanguzi bwonna.
Balemaganye emirundi 3 ng’emirala gyonna bubadde buwanguzi bwa Misiri.
EBYAYAMBYE CRANES OKUWANGULA
Sekaggya okwegatta ku batendesi: Etuttumu Sekaggya ly’alina n’obuganzi mu bazannyi, olwatuuse okuva mu Amerika abazannyi baazzeemu amaanyi.
Wabula omutendesi Basena n’abamyuka be; Matia Lule ne Fred Kajoba, omulimu baagwagala nga guno gwe mupiira gwe babadde balina okulagirako nti bagusobola wadde ng'obuvunaanyizibwa obwabaweebwa bwa kiseera.