TOP

Miya atadde abawagizi ba Misiri ku bunkenke

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2017

ABAWAGIZI ba Misiri batadde pulezidenti w’ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga eryo, Hany Abo Rida ku nninga nga bamusaba agobe omutendesi Hector Cupper.

Obi1 703x422

Simon Moses, Obi Mikel ne Odion Ighalo aba Nigeria nga basanyukira emu ku ggoolo ze baakubye Cameroon. Badding'ana nkya e Cameroon.

Enkya mu za World Cup

Misiri - Cranes, 3:00 ez’ekiro SS3

Ekisaawe: Borg El Arab Stadium

ABAWAGIZI ba Misiri batadde pulezidenti w’ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga eryo, Hany Abo Rida ku nninga nga bamusaba agobe omutendesi Hector Cupper.

Bano bamugambye nti singa alemwa (Cupper) okukuba Cranes ggoolo 5-0 teyandisaanye kusigala ku ttiimu yaabwe.

Okutabuka kuno, kwaddiridde Cranes okukuba Misiri ggoolo 1-0 kye bagambye nti kyasannyalaza emikisa gyabwe okugenda mu World Cup e Russia omwaka ogujja.

Abawagizi abaasangiddwa mu kibuga Alexandria ekya Misiri, baagambye nti omutendesi waabwe Cupper by’atendeka tabimanyi kubanga yasanga ttiimu erina ennono y’okuzannya omupiira gwa kawoowo kyokka n’agigiggyako n’adda mu gw’okuzibira gw’atasobola.

“Cupper yatuggya ku nnono yaffe era kye kitukubya emipiira.

Misiri tebangako ttiimu yakuzibira, okuva edda nga tuzannya mupiira gwa kulumba era nga buli ttiimu kyetutyako, kyokka olaba Uganda etuuka okutukuba tubeera tuddiridde nnyo,” Mahdy Abudel Rahman omusomesa mu yunivasite emu e Misiri bwe yagambye.

Ono yeegaatiddwaako Passem Mohammed, omuvuzi wa takisi mu Alexandria, eyagambye nti, pulezidenti w’ekibiina ekitwala omupiira e Misiri (Abo), yabaleetera mukadde.

“Abo y’atusibyeko nnamukadde we. Omusajja yamusanga ali mu kiseera kya kunnyuka n’amuleeta attattane ttiimu yaffe.

Cupper, n’emipiira gy’awangula, agiwangulira ku lukisakisa,” Mohammed bwe yagambye.

Abawagizi baagasseeko nti, bawangudde ekikopo ky’Afrika emirundi mingi era nga tebakyetaaga okuggyako baagala kulaba ttiimu yaabwe mu World Cup kyokka Cupper alinga azannyira mu mukisa gwabwe.

Cupper, yeegatta ku Misiri mu 2015 n’agituusa ku fayinolo y’empaka za Afrika ezaali e Gabon mu January w’omwaka guno. Cameroon ye yabakuba ku ggoolo 2-1.

BATYA MIYA

Omuwuwuttanyi wa Cranes, Farouk Miya ye muzannyi abawagizi ba Misiri gwe basinga okutya nga bagamba nti bwe baba baakuwangula mupiira guno, ttiimu yaabwe erina okumusalira amagezi.

CRANES BATAKA

Eggulo (Ssande) Cranes lwe yatuuse mu kibuga Alexandria okwetegekera Misiri.

Omutendesi Moses Basena yategeezezza nti abazannyi be bonna bali mu mbeera nnungi era Bannayuganda enkya (Lwakubiri) basuubire obuwanguzi.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Capture 220x290

Freeman ayagala Butebi amuliyirire...

John Freeman Kiyimba awawaabidde mugagga munne Emmanuel Ssembuusi ‘Butebi’ mu kkooti ng’amuvunaana okumulebula....

Pogba23 220x290

Pogba bandimuta mu January

Abakungu ba ManU bandyevaamu ne batunda Pogba mu katale akatandika omwezi ogujja oluvannyuma lw’okuweebwa amagezi...

Skysportsancelottinapoli4862833 220x290

Napoli efuumudde Ancelotti

Nga bakyali mu ssanyu ly’okutimpula Genk eya Belgium ne batuuka ku luzannya lwa ttiimu 16 olwa Champions League,...

Olegunnarsolskjaer271019 220x290

Ole Gunnar Solskjaer aliisa buti...

Obuwanguzi obuddiring’ana ku Spurs (2-1) ne Man City (2-1) bucamudde abagagga ba ManU ne bakakasa omutendesi Ole...

Skysportsrafaelbeniteznewcastle4707489 220x290

Tewali agenda kulemesa Liverpool...

Eyaliko omutendesi wa Liverpool, Rafa Benitez agambye nti tewali ayinza kulemesa ttiimu eno kuwangula Premier sizoni...