TOP

Ennaku enyooka mu bikonde;Abazannyi basiibirira buugi

By Musasi wa Bukedde

Added 4th September 2017

Mu kutendekebwa, abakubi 3 baakozesanga omugogo gwa giraavu gumu mu mpalo.

Bikonde1 703x422

Okuva ku kkono, Kakande, Kakeeto ne Ayiti nga balya emigaati n'obuugi.

Ttiimu y’eggwanga ey'ebikonde The Bombers, eyeetabye mu mpaka za World Boxing Championships e Girimaani, yalemeddwa okusasulira wooteeri ya Hyperion mw'ebadde esuzibwa, yavuddeko abakubi 3; Muzamir Kakande,Geoffrey Kakeeto ne David Ayiti okuggyibwako paasipooti okutuusa ng'ebbanja ery'obukadde 16 lisasuddwa.

Guno si gwe mulundi ogusoose ekintu nga kino okubeerawo kuba ne mu mpaka z'Afrika ze basembye okwetabamu e Congo Brazzaville, ttiimu yaggyibwako paasipooti lwa butaba na ssente za wooteeri.

FRED KISEKKA akukubidde ttooci mu kusoomoozebwa okuli mu ttiimu eno.

EBYAFAAYO BYEBIKONDE

Uganda yeefuga ebikonde mu myaka gy'e 60 ne 70, abaggunzi ab'enjawulo bwe baagiwangulira emidaali.

Ku bano kuliko; Leo Lwabwogo (eyawangula feeza mu mizannyo gya Olympics mu 1972 n'omudaali ogw’ekikomo mu 1968), Eridad Mukwanga (ogw’ekikomo mu 1968), John ‘The Beast’ Mugabi (yaleeta feeza mu 1980) ne Ayub Kalule (zaabu mu 1974 mu mpaka za World Boxing Championships e Cuba). Obuwanguzi buno bwafuula Uganda nnamba 4 mu kuggunda ehhuumi, emabega wa Cuba, Russia ne Amerika ebiseera ebyo.

Ku mugatte gw'emidaali omusanvu Uganda gye yaakawangula mu Olympics, ebikonde birinako ena, (feeza 2 n’egy’ekikomo 2).

Ate mu gya Commonwealth 49 bye bisinzaako egya zaabu (8) ne feeza 10.

Mu mizannyo gy'Afrika, Uganda yaakawangula emidaali 81, nga 22 givudde mu bikonde (zaabu 8, ffeeza 7 n’egy'ekikomo 8).

Ebibalo biraga nti ng’oggyeeko emizannyo gy'Afrika, emisinde we gikulembedde olukalala lw'emidaali 41, teri mizannyo mirala gisinga bikonde mu kuwangulira Uganda midaali mingi, kyokka ye ttiimu esinga obutafiibwako, ekiviiriddeko abazannyi okuyagga nga bagenze mu mpaka e z'ebweru.

 usuf abu ngatendekebwa mu luggya lwamaka agamu Yusuf Babu ng'atendekebwa mu luggya lw'amaka agamu.

 

ENSASULA

Ng’oggyeeko kiraabu ya KCCA Boxing Club n'eya UPDF, teri muggunzi wa bikonde asasulwa musaala. Mu mpaka ng’eza National Open, kiraabu zikansa abazannyi okuzannya ekicuba.

'Zebra' Ssenyange omu ku batendesi ba kiraabu ya Lukanga, yagambye nti buli muzannyi gwe baggya mu kiraabu ezirina akakwate ku yaabwe okuli; Zzana Boxing Club, Zebra Boxing Club n’endala, bamusasula 5000/- buli lunaku n’okubawa ekyemisana era wano kiba eri muzannyi okukola obulungi okutuuka ewala aweze ku ssente.

Embeera ku ttiimu y'eggwanga teyawukana, era bwe babeera mu nkambi, abazannyi beerya nkuta obutafaananako bannaabwe ku ttiimu z’eggwanga ez'enjawulo, abasuubira okuva mu nkambi n'ensako.

Mu kwetegekera empaka z'Afrika ezaali e Congo Brazzaville gye buvuddeko, abazannyi baatiisatiisa okudduka mu nkambi lwa butaweebwa nsako nga bagamba nti ne famire zaabwe baazireka nga tezirina kyakulya.

Baamala emyezi 3 mu nkambi kyokka akakiiko ka NCS kaawaako abayitamu bokka 200,000/-, bo ne bawaako bannaabwe abaasigala 30,000/-.

Abamu ku bazannyi abaagenda e Brazzaville abataayagadde kwatulwa mannya, bagamba nti kati baliira ku nsiko kuba abababanja bagamba nti bagaanyi bugaanyi okubasasula kuba baasasulwa obutitimbe bw'ensimbi olw’okukiirira Uganda mu mpaka ennene bwe zityo.

E Congo Brazzaville, Kakande (Welter), Kakeeto (Bantam) ne Ayiti (Super Heavy) abeetabye mu mpaka z'e Girimaani, baasoose kuwangulira Uganda emidaali esatu, ogwa zaabu ne feeza ebiri, ekyayambye eggwanga okumalira mu kyokusatu ku nsi 32 ezeetabamu.

Bano n’okutuusa leero tebayanirizibwanga mu butongole ekyaviiriddeko eyali kapiteeni waabwe, Shadir Musa okulemera bendera eyabaweebwa nga basimbula.

 

EBBULA LY’EMMERE

Nga beetegekera empaka z’e Girimaani, ‘The Bombers’ yayingira enkambi nga July 13, kyokka ebbanga lyonna lye yamalayo baali bakaaba bbula lya mmere.

Christopher Mbowa, omusawo wa ttiimu ya Bombers ye yasooka okulabula ku ngeri endabirira embi bwe yali egenda okusubya Uganda okukola obulungi naddala ku Ayiti, azannyira mu 'Super Heavy', eyali yeetaaga okuliisibwa ennyo okusinziira ku buzito bw'akubiramu.

Mbowa agamba: “Owa Super Heavy yenna alina okulya essowaani z’emmere 4 buli lunaku, kkiro y’ennyama oba oludda lw’enkoko kuba biwa omukubi amaanyi kw'agatta n’ebibala. Ku bino tewali kyali mu nkambi.

EBIKOZSEBWA Engatto:

Omuyima wa UBF, Godfrey Nyakana, yeemulugunya ku bunafu obuli mu bukulembeze buno obutuusizza n’abazannyi ku ttiimu y’eggwanga okubulwa engatto mwe batendekerwa.

Nyakana yali mu nkambi n'asanga ng'engatto Ayiti mwe yali ng'ejjudde bituli na biraka!

Nyakana agamba nti UBF erina okunoonya abavujjirizi ne kkampuni okwambaza abazannyi ekizibu kino kigonjoolwe.

Giravuzi: Omuntu abanja ttiimu y’eggwanga eyeetabye mu mpaka z’e Girimaani omudaali aba agisabye kinene, bw'ogendera ku byali ku nkambi.

Mu kutendekebwa, abakubi 3 baakozesanga omugogo gwa giraavu gumu mu mpalo.

Kino kyawaliriza ssentebe wa kiraabu ya Kololo High Boxing Club, Moses Mutumba okubaazika emigogo 2, kyokka n'abawa akakwakkulizo nti buli lwe bamala okutendekebwa girina okuzzibwayo ku ssomero.

Emijoozi: Okutuusa mu January w’omwaka guno kkampuni ya Betway lwe yavuddeyo okwambaza buli muzannyi eyeetabye mu mpaka za National Open, emabega abazannyi baali bagabana emijoozi ng'amala okutendekebwa aguggyamu n'aguwa omulala ayingire emiguwa.

Ebifo omutendekera: Ku kiraabu ezisoba mu 60 UBF ze yawa olukusa okutendeka ebikonde, ezirina jjiimu ziri mbale okuli KCCA ebadde epangisa jjiimu ku kizimbe kya Mabiriizi mu Kampala.

Endala okuli; COBAP, Namungoona, Katwe, Zebra ne Sentamu zitendekebwa mu luggya mu maka g'abantu.

EBIVIIRIDDEKO EMBEERA ENO

lUBF terina mugongo gw'eyimirizaawo, era ensimbi ezisinga eziggya mu NCS.

Beetaagamu abavujjirizi. AIBA ekibiina ekitwala ebikonde by'abatali bapulofeesono tekivujjirira bibiina bya waka nga FIFA bw'ekola ku mipiira.

UBF KY'EGAMBA

Omwogezi wa UBF, Fred Kavuma, agamba nti ekibiina ky'ensi yonna (AIBA) obutabakwasizaako, kye kisinze okubeera ekizibu kyabwe.

Kavuma yasabye ebitongole okussa ssente mu kiraabu kuba kizibu abantu ssekinnoomu okuziyimirizaawo.

OWEEBIKONDE BYE YEETAAGA

Giraavu (250,000/-)

Bandegi (25,000/-)

Omuguwa (60,000/-)

Engatto (30,000/-)

Akakwata amannyo (Mouth Guard) (20,000/-)

Akakwata obusajja (Makende Guard) (70,000/-)

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kavuma1jpgweb 220x290

Omukazi yanfera omukwano

Nze Abdurrahman Musingunzi 25, mbeera Kalerwe. Twasisinkana n’omukazi mu ttendekero erimu eryobusomesa e Ibanda...

Mwana2jpgweb 220x290

Abazadde basobeddwa olw'omwana...

Abazadde basobeddwa olw'omwana waabwe okuyubuka olususu buli olukya naye nga tebamanyi kimuluma. Bagamba nti omwana...

Kadaga 220x290

Kadaga alabudde abakozesa obwana...

Sipiika wa Palamenti, Rebecca Kadaga asabye gavumenti okussaawo amateeka amakakali agakangavvula abakozesa abaana...

Ndagamuntuyomugenzi2 220x290

Afiiridde mu mulyango nga bamutwala...

Abatuuze basabye bannannyini mayumba okukomya okupangisa abantu amayumba nga tebafunye bibakwatako

Sat2 220x290

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba...

Ttiimu 40 zikakasizza okwetaba mu mpaka za Begumisa cup