TOP

Masaka efunye ttiimu ey’awamu

By Musasi wa Bukedde

Added 10th September 2017

Masaka efunye ttiimu ey’awamu

Nam1 703x422

Ssentebe wa disitulikiti y’e Masaka, Jude Mbabaali (wakati), Omulangira Jjuuko (owookubiri ku kkono) maneja wa Greater Masaka United n’bazannyi.

OLUVANNYUMA lw’ebbanga ng’ekitundu ky’e Masaka tekirina kiraabu ya mupiira hhundiivu okuva Masaka Local Council lwe yasaanawo, abakulembeze ab’enjawulo mu ttundutundu lino batonzeewo endala.

Ttiimu empya bagituumye Greater Masaka United ng’eva mu ttiimu ya Lweza FC gye baaguze oluvannyuma lw’okusalwako mu liigi ya babinywera. Ttiimu eno eyatongozeddwa, egatta disitulikiti 10 ezikola ekitundu ky’e Masaka (Greater Masaka) era nga zonna zigabana kyenkanyi obuvunaanyizibwa bw’okugivujjirira.

Mu lukiiko lwa bannamawulire olwatuuziddwa ku Sports Club mu kibuga Masaka, okutongoza kiraabu eno, ssentebe wa disitulikiti y’e Masaka, Jude Mbabaali eyawomye omutwe mu nteekateeka eno, yategeezezza nti ttiimu etondeddwaawo n’ekigendererwa kya kutumbula bitone bya bavubuka mu kitundu. “Tulina ebitone bingi naye abavubuka tebayambiddwa kimala. Tusuubira okuyamba bangi okusitula ebitone byabwe,” Mbabaali bwe yategeezezza.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lob2 220x290

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda...

Omukuumi attiddwa n’asattiza ab’ebyokwerinda

Ndo1 220x290

Omusawo asimattuse okugajambulwa...

Omusawo asimattuse okugajambulwa

Gub1 220x290

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Balwanidde tikiti z’Omutujju

Web3 220x290

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?...

Bobi, wasigazzaamu ku doola ompeeyo?

Tub1 220x290

Hoo...ataakulaba

Hoo...ataakulaba