TOP

Carragher alangidde Liverpool okusonooka

By DAVID KIBANGA

Added 2nd October 2017

EYALIKO ssita wa Liverpool, Jammie Carragher alumbye ttiimu ye oluvannyuma lw’okwolesa omutindo omubi nga ettunka ne Newcastle ku wiikendi.

Monreal1 703x422

EYALIKO ssita wa Liverpool, Jammie Carragher alumbye ttiimu ye oluvannyuma lw’okwolesa omutindo omubi nga ettunka ne Newcastle ku wiikendi.

Liverpool ne Newcastle bakoze amaliri mupiira Carragher gwasuubira nti Liverpool yandibadde egobamugobe. Carragher agamba nti Jurgen Klopp, omutendesi wa Liverpool alina okufuna engeri obukodyo obuyamba ttiimu ye okulumbibwa ku sipiidi nga baggya omupiira mu kisenge kyabwe.

“Basoonoka nnyo buli lwebabeera baggya omupiira mu kisenge. Ttiimu zonna ennungi zikyusa mangu okuva mu kisenge okudda mu Kulumba era eno ye nsonga lwaki zikuba endala. Buli ttiimu bwekyusizza ku sipiidi, esanga ginewaayo tennaba kwetereeza mu kisenge ne kibayamba okuteeba ggoolo.” Carragher bweyategeezezza.

Phillipe Coutinho yakubye ggoolo amakula kyokka Joselu n’ayamba Newcastle okuteeba ggoolo eyeekyenkanyi.

Carragher akolera kkampuni ya Sky  nga eno yeerina obuvunanyizibwa bw’okulaga Premier.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pak2 220x290

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa...

Mike Mutebi ne Misagga bandibonerezebwa

Web2 220x290

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda...

Ne mu kusoomoozebwa tewava ku Katonda

Kap1 220x290

Wawanirira Klezia ya St. Agnes...

Wawanirira Klezia ya St. Agnes Makindye

Lap2 220x290

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi...

Otuzimbye mu mulimu gw'ebifaananyi

Mpa2 220x290

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera...

Abavuganyizza mu z'okukyusa embeera beebugira buwanguzi