TOP
  • Home
  • Ebikonde
  • Vegas Lubega aweze okuggunda Omuzungu amuddugaze

Vegas Lubega aweze okuggunda Omuzungu amuddugaze

By Musasi wa Bukedde

Added 17th October 2017

Vegas Lubega aweze okuggundu Omuzungu amuddugaze

Lubega2 703x422

Vegas Lubega ku ddyo ng'ali mu nsiike

Omuggunzi w’ebikonde Joey Vegas Lubega alalise okutira munansi wa Ireland Kenny Egan mu miguwa mu lulwana olugenda okubumbujjira ku bbaala ya E-Zone e Kasubi nga October 20.

Lubega ali mu kutendekebwa okwakaasammeeme ku giimu ya Power Flex e Namungoona ng’eno gy'asinzidde n'awera nga bw'alinze ssaawa yokka okwambalagana n’Omuzungu amufuntule.

“Kiri ku likodi sikubibwa waka, buli agezezzaako okuggyawo likodi yange talutonze,” Lubega bw'agambye.

Lubega yaakazannya ennwaana 13 awaka zonna ng’aziwangula.

Kati awezezza ennwaana 37 kw'awangudde 20 n’okukuba tonziriranga 13 ate Omuzungu gw'agenda okulwana naye yawangula omudaali gwa feeza mu mizannyo gya Olympics wa 2008 mu kibuga Beijing ekya China.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pati 220x290

Abaasimattuse abatujju e Kenya...

EGGULO ku Lwokusatu mu biseera eby’okumakya, pulezidenti wa Kenya yayogedde eri eggwanga n’ayozaayoza ebitongole...

Vutu 220x290

Kamera gwe yakwata ng'abba essimu...

OMUVUBUKA eyanyakula essimu ku musaabaze mu takisi n'adduka nayo asimbiddwa mu kkooti ya Buganda Road n'avunaanibwa...

Unebplejanet 220x290

Ebyavudde mu PLE bifuluma leero...

MINISITA w’ebyenjigiriza n’emizannyo, Janet Kataha Museveni afunye akamwenyumweyu UNEB bw’emwanjulidde ebyavudde...

Tata 220x290

Gavt. ekkirizza ensobi ezaakolebwa...

SSAABAWOLEREZA wa Gavumenti, William Byaruhanga akkirizza nti, okuggya ekkomo ku myaka gya Pulezidenti kyakolebwa...

Pata 220x290

Alina ekiraamo kya Hajji Mukasa...

EKIRAAMO ky’eyabadde omusika w’eyali Mufti Ahamad Mukasa kikyabuze era famire ekola butaweera okukizuula.