TOP

Omuwanika wa Olympics Committee afudde

By Silvano Kibuuka

Added 17th October 2017

Munnabyamizannyo abadde omuwanika mu bitongole by’emizannyo n’amasomero, Godfrey Nuwagaba afudde kibwatukira amakya ga leero (Lwakubiri) bw’abadde agenda e Dubai okwewummuzzaamu.

Nuwagaba 703x422

Omugenzi Nuwagaba

Bya SILVANO KIBUUKA

Munnabyamizannyo abadde omuwanika mu bitongole by’emizannyo n’amasomero, Godfrey Nuwagaba afudde kibwatukira amakya ga leero (Lwakubiri) bw’abadde agenda e Dubai okwewummuzzaamu.

Nuwagaba, abadde muwanika w’akakiiko akavunaanyizibwa ku muzannyo gya Olympics aka Uganda Olympic Committee (UOC) mu kisanja ekyokubiri era ng’abadde omuwanika w’ekibiina ekiddukanya emisinde ekya Uganda Athletics Federation (UAF) era ekisanja ekyokubiri.

Nuwagaba yabadde ku nnyonyi ya Emirates eyasimbudde e Ntebe ku ssaawa 10 akawungeezi k'eggulo (Mmande) nga yabadde egenda butereevu e Dubai ng'ali ne mikwano gye, mukyala we n’omwana waabwe omuto.

Apollo Musherure, amyuka omuwandiisi mu kibiina ky’emisinda ekya UAF ategeezezza nti omugenzi yabadde ne mukyala we Winnie Nuwagaba, n’omwana waabwe omuto ne mikwano gye okuli; Eridadi Munooni ne Richard Gordon Aine.

“Munooni yantegeezezza ku ssimu nti baabadde baakayita mu Ethiopia abasaabaze abawerako (okuli ne Munooni) ne batandika okussa obubi ng’omukka ogussibwa gucankalanye.

Abagoba b’ennyonnyi baawaliriziddwa okusaza mu lugendo ne badda ku kisaawe kya Adiss Ababa (Ethiopia) wadde tebaabadde baakugwayo okutaasa abaayisiddwa obubi.

Abasaabaze abalala baateredde wabula Nuwagaba yayisiddwa bubi nnyo era n’atwalibwa mu ddwaaliro olwo mukyala we n’omwana ne bamusigalako abalala ne beeyongerayo era eby’okufa kwa munnaabwe baabiwuliridde Dubai,” Musherure bwe yategeezezza.

 Entegeka z'okuzza omugenzi zikolwako era omulambo gusuubirwa okutuuka mu kiro ekikeesa enkya (Lwakusatu) okusinziira ku bakungu ba UOC.

Nuwagaba yazaalibwa 3/7/1964 ng’asibuka Biharwe ng’oyingira Mbarara.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda

Deb1 220x290

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa...

Abakola ebimansulo e Kyetora balabuddwa