TOP

Morocco y'egenda okutegeka eza CHAN wa 2018

By Stephen Mayamba

Added 17th October 2017

AKAKIIKO k’ebigwa bitaraze mu CAF ekibiina ekiddukanya omupiira ku lukalu lwa Africa nga kakubirizibwa ssentebe wayo (CAF) Ahmad Ahmad kasazewo okuwa Morocco olukusa okutegeka empaka za CHAN omwaka ogujja ezaggyibwa ku Kenya.

Batle 703x422

Ttiimu ya Uganda Cranes eyabaguzannyira awaka eyawuttula Rwanda 3-0 mu gw'oluzannya olusembayo mu z'okusunsulamu e Kitende. (STEPHEN MAYAMBA)

Okusinziira ku kiwandiiko ekyafulumiziddwa ku mukutu gw’ekibiina ogwa www.cafonline.com, mu lukiiko olwatuula  nga 14 October 2017 mu kibuga Lagos e Nigeria basalawo empaka z’omulundi ogw’okutaano eza Total African Nations Championship (CHAN) ezetabwamu abazannyi abazannyira awaka.

Morocco ne equatorial Guinea gasaba okutegeka empaka zino oluvanyuma lwa Kenya eyalina okuzitegeka okugibwako olukusa omwezi oguwedde (September 23) CAF  bwe yakizuula nti yali teyetegese bulungi.

Empaka za CHAN zakubeerayo wakati wa January 12  ne February 4, 2018, nga zakwetabwamu ttiimu z’amawanga 16 ez;abazannyi abazannyira mu liigi z’amawanga gabwe awaka.

Uganda y’emu ku mawanga agayitamu okuzannya mu mpaka zino okukiikirira ekitundu ky’amasekati n’obuvanjuba bwa Africa. Uganda yagyamu Rwanda ku mugate gwa ggoolo 3-2.

Amawanga agagenda okwetamu mu bujjuvu;

Libya, Egypt,Mauritania, Nigeria, Ivory Coast, Burkina Faso, Guinea, Equatorial Guinea, Congo, Cameroon,Uganda, Sudan, Angola, Zambia, Namibia ne Morocco (abategesi).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...