TOP

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa nga 17 omwezi ogujja

By Musasi wa Bukedde

Added 19th October 2017

Obululu bwa CHAN bwakukwatibwa nga 17 omwezi ogujja

Cab1 703x422

OBULULU bw’ebibinja mu mpaka z’akamalirizo eza Total African Nations Championship (CHAN) 2018 bwakukwatibwa nga  November 17,  2017 mu kibuga Rabat ekya  Morocco okusinziira ku kiwandiiko ekyateereddwa ku mukutu gwa CAF ekibiina ekiddukanya omupiira mu Africa ogwa www.cafonline.com.

Uganda y’emu ku mawanga 16 agagenda okwetaba mu mpaka zino  ezeetabwamu abazannyi abazannyira mu liigi z’amawanga gaabwe awaka. Omwezi oguwedde CAF yasazeewo okuwa Morocco omukisa okutegeka empaka z’omwaka ogujja oluvanyuma lwa Kenya eyalina okuzitegeka okuzuulibwa nga yabadde teyetegese bulungi.  

Empaka za CHAN zaakubeerayo wakati wa January 12 ne February 4, 2018 mu bibuga bina Agadir, Casablanca, Marrakech and Tangier. 

Uganda yayitamu okukiikirira ekitundu ky’amasekkati n’obuvanjuba bwa Africa. Uganda yaggyamu Rwanda ku mugate gwa ggoolo 3-2.

Amawanga agagenda okwetamu mu bujjuvu;

Libya, Egypt, Mauritania, Nigeria, Ivory Coast, Burkina Faso, Guinea, Equatorial Guinea, Congo, Cameroon, Uganda, Sudan, Angola, Zambia, Namibia ne Morocco (abategesi).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

3f74e568a3684a1eac5d6d555644365318 220x290

Magufuli alagidde abaddukanya ekidyeri...

OMUWENDO gw’abantu abaafiiridde mu kidyeri mu nnyanja Nnalubaale gwongedde okulinnya! Pulezidenti wa Tanzania John...

Sevo 220x290

Ab'e Rubirizi basabye Museveni...

ABAKULEMBEZE b’omu disitulikiti y’e Rubiriizi basabye Pulezidenti Museveni okukoma ku bajaasi ba UPDF okukendeeza...

Budgetkasaijaweb 220x290

Bawera kusimbira kkuuli enteekateeka...

ABABAKA ku kakiiko ka palamenti akavunaanyizibwa ku byobulimi bawera kusimbira kkuuli enteekateeka z’okuyisa embalirira...

Kola 220x290

Mukolerere obukadde bwammwe - Minisita...

MINISITA omubeezi ow’ebyenguudo Gen. Edward Katumba Wamala akubirizza abantu okukolerera obukadde bwabwe nga bakyalina...

42312484102150760182472974931861717081653248n 220x290

Bobi Wine eby’okutulugunya abantu...

BOBI Wine ne banne eby’okubatulugunya babitutte mu kibiina ky’amawanga amagatte (UN ), era boongedde okukungaanya...