TOP

Wenger munyiivu eri abawagizi ba Arsenal

By Musasi wa Bukedde

Added 27th October 2017

Arsene Wenger, atendeka Arsenal munyiivu olw’abawagizi abatamusiima sso nga obudde bwe bwonna obw’olunaku abamala ku mirimu gya ttiimu eno.

Wengerunhappy 703x422

Wenger

Obubaka buno yabuweerdde mu lukiiko ttabamiruka olw’abalina emigabo mu Arsenal olwatudde mu Emirates Stadium ku Lwokuna.

Wenger yagambye nti, “Ennyonta y’okukola emirimu gya Arsenal nkyagirina nga we nasookera mu 1996 naye nneewuunya abantu abamu kwe basinziira okunvuma!” Yeewaze okwogera ku ky’abawagizi abagobaganya ssentebe Sir Keswich wabula n’abasaba bongere okuwagira ttiimu.

“Ttiimu yaffe essibwamu ekitiibwa era ya njawulo nnyo ku ndala. Tuleme kugivvoola wabula tubeere kitole era tukkirize ekinaaba kizze ku nkomerero ya sizoni,” Wenger bwe yagasseeko.

Yabagambye nti ky’assaako essira kaakano y’enzannya enyumira abawagizi, okuwangula ebikopo n’okufuna wiini buli mupiira.

“Bino tetuyinza kubituukako nga bulimu muntu akwata kkubo ddala. Tugatte obwongo bwaffe ffenna tukolerere Arsenal. Buli tukubwayo omupiira gumu ng’abawagizi balowooza ttiimu mbi ekitali kituufu,” bwe yakkaatirizza.

Arsenal eri mu kifo kyaamukaaga mu Premier ng’erina obubonero 16 mu mipiira 9 ate Man City ekulembedde eri ku 25.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Sev3 220x290

Museveni agguddewo olusirika lwa...

Museveni agguddewo olusirika lwa NRM

Kab2 220x290

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka...

Ababadde bazze okupima ettaka emmotoka yaabwe bagikumyeko omuliro

Lab2 220x290

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda...

Kirya yeesozze "quarter" za Uganda Cup n'okontola

Pop1 220x290

Okusunsula abayizi abagenda mu...

Okusunsula abayizi abagenda mu S5 kuwedde

Lop2 220x290

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze...

Ababbi balumbye ebyalo abatuuze ne battako omu