TOP

Atambeya engatto ataasizza Simba FC mu Big League

By Musasi wa Bukedde

Added 4th November 2017

OMUZANNYI wa Simba FC eya Big League, Henry Mukwaya yawummuzza engatto z’atembeeya ku bbali n’ayingira ekisaawe okutaasa ttiimu ye bwe yagiteebedde ggoolo ey’obuwanguzi nga battunka ne Ntinda FC e Kamwokya.

Henrymukwayaowasimbafc1 703x422

Mukwaya eyayambye Simba FC

Bya  GERALD KIKULWE

Egyisambibwa mu Big League (Sunday)

Synergy FC – Kansai Plascon FC, Kasasa

Airtel Kitara FC – Water FC, Hoima

Kireka UTD FC- Nyamityobora FC, Namboole Out

Greater Masaka  FC – Simba FC, Masaka

Ndejje Univ. FC – Lira UTD FC, Luwero

Kamuli Park FC – JMC Hippos FC, Kamuli

Bukedea T/C FC – Paidha Black Angels, Bukedea

Agape SS FC – Doves All Stars FC, Agape SS

Kyetume FC – Vura FC, Nakisunga FC Amuka

Bright Stars FC – Kataka FC, Lira

Mukwaya 30, omutuuze w’e Nasana ye yataakuluzza Simba  FC ku Ntinda FC eyabadde efuuse omuteego ng’esibye bbaasi okusobola okufuna akabonero ku kisaawe kyayo wabula mwana mulenzi eyazze ng’entuuyo azisaza bibatu okuva mu kutunda egatto ekisenge kya Ntinda yakiyiye ku ttaka nga gyoli ayiwa ngatto mu Owino era n’ateeba mu ddakiika eya 44 Simba bwe yabadde ewangula ggoolo 1-0.

“Ffe tuli basajja bayiribi ba ngatto, tetusemba nakyo, eddembe bwe ligaana tuteekamu amaanyi okutuusa nga tuwangudde era Ntinda ebadde tesobola kuwona,” Mukwaya bwe yeewaanye.

Simba FC kati esenvudde okuva mu kifo ekyo 8 n’edda mu kyo 5 n’obubonero 9 ng’ezzaako kukyalira Greater Masaka  FC mu kibinja kya Rwenzori.

EBITONOTONO KU MUKWAYA

Musajja mufumbo n’abaana 3

Asambiddeko Lion Sport FC ne Police FC eza Rwanda, Kinyara FC, Ndejje University FC, Horizon FC n’endala nnyingi wabula agamba nti ayagala kati kuzannyirako KCCA FC oba SC Villa mu liigi ya babinywera.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb1 220x290

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde...

Beefudde abasawo ne bamufera obukadde 15

Gab1 220x290

Omutaka Gabunga awummuzza basajja...

Omutaka Gabunga awummuzza basajja be

Pip1 220x290

Aba People Power bongedde okwenyweza...

Aba People Power bongedde okwenyweza

Lat1 220x290

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu...

Enkungaana za Bobi Wine zirinnyiddwamu eggere

Ch16 220x290

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana...

Ebyaviiriddeko Rema akuding'ana ne Evans