TOP

'Emisinde gya MTN gya njawulo'

By Stephen Mayamba

Added 5th November 2017

EMISINDE gya MTN Kampala Marathon egy’omwaka guno, gyakuddukibwa nga November 19 era gya mulundi gwa 14 bukya MTN etandika kugitegeka mu 2004. Abanadduka baakusimbulwa ku kisaawe e Kololo.

Mara 703x422

Abamu ku baddusi abeetaba mu misinde egiyise.

STEPHEN MAYAMBA akulaze ebifudde emisinde egy'enjawulo: Gye gisinga obuganzi mu ggwanga:

Okuva mu 2013, abantu abazze bazeetabamu basukka mu 20,000 era emisinde gino, y’entujjo y’emizannyo esinga mu Uganda nga Uganda Cranes yokka lw'eba erinayo omupiira ye givuganya.

Buli mwaka, abantu aba buli kika beewandiisa okugyetabamu nga kw'ogasse n'abava mu nsi ezitwetoolodde.

Buli azeetabamu, aba n'ensonga ye kyokka zo ensimbi ezivaamu, MTN ezikozesa okutumbula embeera za Bannayuganda.

Gikutte ku bulamu bw’abantu ab’enjawulo: Ensimbi eziri mu buwumbi ezizze zikuηηaanyizibwa mu bantu ssaako n’ezo eziweebwayo basiponsa abakolagana ne MTN okuzitegeka, zikozesebwa ebintu eby’enjawulo okuyamba abantu abali mu bwetaavu.

Okugeza; eza 2004, 2005 ne 2006 zaayamba ku bakyala abali embuto mu nkambi z'ababundabunda, mu 2010 ne 2011 zaayamba mu kutuusa amazzi amayonjo mu bantu ate ez'omwaka oguwedde, zaakola kaabuyonjo mu masomero ga KCCA.

Ez’omwaka guno zigenda kuyamba ku byobulamu bw’abakyala abazaala mu malwaliro okuli; ery’e Komamboga ne Kiswa n’okuwa amabaati amapya amasomero agakyalina amabaati ga asbestos agalwaza kkansa.

Giri ku mutindo gwa nsi yonna: Ku misinde egy’enjawulo egitegekebwa mu Uganda, egya MTN Kampala Marathon gye gimu ku gyakakasibwa ekibiina ekiddukanya emisinde mu nsi yonna ekya International Association of Athletics Federation (IAAF) nga bayita mu kya Uganda Athletics Federation (UAF) era ne giweebwa ne satifi keeti ekitongole ekivunaanyizibwa mu misinde gy’embiro empanvu.

Kino kitegeeza ebiva mu misinde gino bikkirizibwa ku mutindo gw’ensi yonna y'ensonga lwaki gyettanirwa nnyo abaduusi okuva wabweru w'eggwanga.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Dham 220x290

Embeera y’omubaka Dhamuzungu yeetaga...

Omubaka Dhamuzungu asimattuse okufiira mu kabenje k’e mmotoka, embeera ye yeetaga kusabira.

Aidslogo 220x290

Najeemera ebiragiro by’abasawo...

Asiah Tusingwire mulwadde wamukenenya. Yejjusa lwaki teyagoberera basawo kye baamugamba eky’okumira eddagala okusobola...

Muddo1 220x290

Okulunda kugatteko okulima omuddo...

Asiimwe ye nnannyini ffaamu ya Itungo Farm esan­gibwa ku kyalo Kyoga mu Wakiso ng’etudde ku yiika ssatu n’ekitundu...

Lusuku1 220x290

Endabirira y’olusuku mu biseera...

OLUVANNYUMA lw’okukozesebwa ebbanga eriwerako nga sirina kye nganyuddwaamu nabivaako ne mpangisa ekibanja ne nnima...

Nucafe 220x290

Abalimi b’emmwaanyi babakuutidde...

KAWEEFUBE w’okutumbula okulima emmwaanyi mu ggwanga aba aBi bakwatagangye n’ekibiina ekigatta abalimi b’emmwaanyi...