TOP

Abeebikonde bakungubagidde Kikungwe

By Musasi wa Bukedde

Added 6th November 2017

Kiraabu z’ebikonde 4 zikungubagidde abadde ssentebe wa kiraabu ya Kikungwe Boxing, Al- Hajji Isa Kikungwe eyafudde ekibwatukira ku makya g'olwa Ssande.

Kikungwe4 703x422

Abamu ku bazannyi ba kiraabu ya Kikungwe Boxing Club abaasangiddwa mu kutendekebwa e Zana.Ekif FRED KISEKKA.

Bya Fred Kisekka

Zino zikulembeddwa Kikungwe Boxing Club omugenzi gy’abadde akulira, Zana Boxing Club, Aggrey ne Katwe olw’obuyambi bw’abadde abadduukirira nabwo.

Mahumoud Kateregga maneja wa Kikungwe Boxing Club yagambye nti bakubiddwa ekikangabwa mu nfa y’abadde waabwe, n'agamba nti baakulwana masajja okugikuuma n’okugikulaakulanya basobole okukuuma erinnya ly’omugenzi.

Bamusikizza David Kyambadde abadde amumyuka, eyeeyamye okussaawo empaka z’okujjukirirako omugenzi Kikungwe mu bitundu bya Zana.

Kikungwe abadde mu bikonde emyaka egisoba mu 10 nga yavuganyaako ne ku bwapulezidenti bw’ekibiina ekibiddukannya mu ggwanga ekya UBF mu 2013 kyokka n'ameggebwa omulamuzi Kenneth Gimugu.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mourinho2 220x290

‘Abateebi banjiyeeyo mu maaso ga...

ManU, eyabadde yeesunze obuwanguzi, egudde maliri ne Wolves (1-1), ttiimu eyaakasuumuusibwa okujja mu Premier....

Ony 220x290

Abapoliisi abalabikidde mu katambi...

Poliisi ekutte basajja baayo bana abalabikidde mu katambi nga batulugunya omuvubuka wa 'people power' e Kajjansi...

Cho 220x290

Chozen Blood ayabulidde ekibiina...

Chozen Blood ayabulidde ekibiina kya 'Team No Sleep' agamba ebintu tebitambudde bulungi.

Kirumiranew5 220x290

OKUTTA KIRUMIRA: Basonze olunwe...

AMAGYE geekenneenyezza obujulizi ku kutemula Kirumira ne bagattako ne bye bakung'aanyizza mu bantu abaasoose okukwatibwa...

Pana1 220x290

Engeri gye nnonda engoye ezinnyumira...

Bino yabinnyonnyodde PATRICK KIBIRANGO. “Bye nnyambala nfuba okulaba nga bigendera ku kikula ky’omubiri gwange....