TOP

Cranes eggumidde okwang'anga Congo Brazzaville

By Musasi wa Bukedde

Added 7th November 2017

OMUTENDESI wa Cranes, Moses Basena yafunye akaseko ku matama bapulofeesono mukaaga bwe beegasse ku Cranes okwetegekera omupiira gwa Congo Brazzaville ku Ssande.

Img20171002wa0036 703x422

Abazannyi ba Cranes nga bali mu kutendekebwa

Ssande mu z’okusunsulamu World Cup:

Congo Brazzaville - Cranes, 11:30

Guno gwe mupiira ogusembayo mu kibinja E kyokka nga gutunuuliddwa okutegeka ttiimu ya CHAN kuba Cranes enkulu tekyasobola kugenda mu World Cup olwa Misiri okuba nti yayitamu dda.

Ttiimu esuubirwa okusitula enkya okwolekera ekibuga Brazzaville kyokka Basena agamba nti bagenda kufiirawo okulaba nga bakomawo e Kampala n’obuwanguzi.

Bapulofeesono abeeyanjudde mu nkambi eggulo kuliko; kapiteeni Denis Onyango, Hassan Wasswa, Geoffrey Serunkuuma, Isaac Isinde, Denis Guma ne Godfrey ‘Jjajja Waalu’ Walusimbi nga kati Basena alinda Murushid Juuko ne Emma Okwi abaguzannyira mu Simba eya Tanzania.

Cranes yayingidde enkambi ku Sky Hotel e Naalya ku Ssande okwetegekera omupiira guno Basena gw’agamba nti gwa mugaso nnyo eri eggwanga wadde nga Uganda yawanduka dda mu kikopo kya World Cup.

Cranes yatandise okutendekebwa ku makya n’akawungeezi, Basena ky’agamba nti, “Kati tutandise okutendeka kumakya n’olweggulo kuba ebiseera biweddeyo.

Wadde nga Namboole akyasambirwamu emipiira gya liigi, tujja kufuna ebisaawe ebirala kuba twakkiriziganya n’abategeka liigi, ereme kuyimirira,” Basena bwe yategeezezza mu kutendeka kw’ eggulo ku makya.

Bangi ku bazannyi abali mu kutendekebwa baakuyamba nnyo ttiimu ya Cranes egenda okuzannya empaka za CHAN e Morocco mu January omwaka ogujja era nga kino kye kyawaliriza Basena okusalawo okukozesa abazannyi b’awaka abangi kuba be bakkirizibwa okuzannya CHAN.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mot1 220x290

Ababbi babbye nnamba za mmotoka...

Ababbi babbye nnamba za mmotoka e Kyengera ne basaba ssente

Lab1 220x290

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika...

GAVANA alabudde abayuza n'okuwandiika ku ssente

Lop1 220x290

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo...

Minisita ayagala KCCA esse obukwakulizo obupya ku baagala okuzimba ebizimbe mu Kampala

Funayo 220x290

Attottodde engeri omuzigu gye yatemye...

OMUKAZI Florence Nannyombi ‘omutujju’ gwe yasikambuddeko omwana we Amos Sekanza ow’emyaka omusanvu n’amutemako...

Gata1 220x290

Omusajja atemyeko abantu 4 emitwe...

OMUSAJJA bwe yatemyeko obulago abantu bana, baasoose kumuyita mulalu. Azzeeyo ku kyalo n’atemako emitwe abalala...