TOP

Emijoozi gya MTN Marathon gifulumye

By Musasi wa Bukedde

Added 8th November 2017

EMIJOOZI omunaddukirwa emisinde gya MTN Marathon gifulumye era abantu ab'enjawulo batandise okugyettanira.

Koppa 703x422

Abamu ku baasangiddwa nga bagula emijoozi ku dduuka lya MTN ku Shoprite.

Wadde enkuba yakedde kutonnya eggulo, Bukedde bwe yatuuseeko mu maduuka ag'enjawulo, yasanze abantu beewandiisa nga baaweebwa n'emijoozi gino.

Ku dduuka lya Shoprite, Bernard Kaboole omu ku basangiddwaawo, yategeezezza nti ssente ze asazeewo zigende mu kuyamba abayizi abali mu masomero agalina amabaati ga asbestos (agalwaza kkansa).

" Kkansa bwe bumu ku bulwadde obufuukidde Bannayuganda omuteego ensangi zino, nga mulimu ne mikwano gyange, kye nvudde nsalawo okuteeka ssente zange ku mulamwa guno," Kaboole bwe yannyonnyodde. Ate Dan Mbidde yasaazeewo ezise zigende ku kudduukirira bannakazadde b’eggwanga.

" Abakyala bano bagenda kutuzaalira abagagga n'abasawo abanaayamba okumalawo kkansa mu biseera eby’omu maaso," Mbidde bwe yagambye.

Ku mulundi guno emisinde gyakuddukirwa ku miramwa ebiri okuli; okuyamba bannakazadde b’eggwanga mu ddwaaliro ly'e Komamboga ne Kiswa, oba okuwa amasomero amabaati agatalina bulabe, nga gadda mu ago agaazulibwa nti galwaza kkansa, era omuntu wa ddembe okusalawo ssente ze wezigenda.

Okwetaba mu misinde gino nga November 19, osasula 23,000/- nga weeyambisa enkola ya Mobile Money oba 25,000/- mu kaasi ku maduuka ga MTN ag'enjawulo mu ggwanga, n'ettabi lya Stanbic ku William Street.

Giwagiddwa MTN, Vision Group (efulumya ne Bukedde), Stanbic Bank, Huawuei, AAR ne n'ekibiina ky'emisinde ekya UAF.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda