TOP

Muhammed Ngobi awangudde MTN Marathon y'abaliko obulemu

By Moses Kigongo

Added 12th November 2017

Muhammed Ngobi awangudde MTN Marathon y'abaliko obulemu

Ok1 703x422

ABANTU abaliko obulemu balaze kye balinawo mu mpaka z’emisinde gya MTN Marathon olwaleero e Lugogo

Gino gy’emisinde egitera okugya abantu  ekifu ku maaso wakati mu kwetegekera emisinde gya MTN egy'etabwaamu bannayuganda bonna

Gigenze okukomekkerezebwa nga Muhammed Ngobi eyaziwangula omwaka oguwedde azzeemu okuzefuga mu mutendera gwa “Tri Cycle” ate Joseph Tebadenke  n'awangula mu gwa “Wheel Chair”.

Mu bakyala Mariam Kasabiina awangude mu (Tri Cycle) ate Florence Achene n'awangula mu (Wheel Chair).

Abawanguzi bano  bagenda kukwasibwa ebirabo byabwe omuli ssente enkalu wamu n’emiddaali ku Sande nga 19 ku lunaku emisinde gya MTN Kampala Marathon lwe egy'okubeera e Kololo.

“Twebaza  MTN olwokufaayo n'etegekawo empaka z’abantu abaliko obulemu mu ggwanga kubanga kino tekikoma ku kulaga nti  banaffe abo balina obusobozi okwenyigira mu mizannyo mu ggwanga wabula kituyamba n’okulonda ttiimu enevuganya mu mpaka za Paralympic ez’abantu abaliko bulemu ebweru w’eggwanga”,bwatyo Nalis Bugingo omu ku bakungu b’ekibiina kitegeka emisinde mu ggwanga bw'ategeezezza 

 Empaka za MTN Kampala Marathon ez’omulundi guno enkulu z'akubeerawo ku Sande ejja e Kololo wansi w'omulamwa ogw'okudduukirira Bannakazadde b’eggwanga lino okuva mu ddwaliro lye Komamboga  ne Kiswa wamu n’okuyamba abayizi abasomera mu massomero agakozesa amabaati agaleeta obulwadda bwa Kansa.

Okugyetabamu osasula 23000 nga weyambisa enkola ya mobile money  oba 25000 mu  kaashi okuva mu madduuka ga MTN agenjawulo n’ettabi lya Stanbic erisangibwa ku William street mu Kampala.

Giwagidwa MTN Uganda,Vision Group,Stanbic banka,Huawuei,n’ekibiina ky’emisinde ekya UAF.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Lab12 220x290

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e...

Okulonda kwa Ssentebe wa NRM e Mityna kuzzeemu kigoye wezinge

Gwe1 220x290

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo...

Taata bamuwadde emitwalo 30 n'awaayo omwana we ew'omusamize bamusadaake

Nkumba2jpgweb 220x290

Abadde ayingira mu ofiisi z'ebizimba...

Allan Nkumba omutuuze w'e Kabowa mu Sserwadda zooni ye yakwatiddwa poliisi ya CPS ku Lwokusatu oluvannyuma lw’okugenda...

Sjpgweb 220x290

Eyanfunira omulimu mufiirako

Nze Innocent Katusiime 29, mbeera Nakawa. Buli lwe ndowooza ku ngeri gye nnasisinkanamu maama w’omwana wange essuubi...

Nsamba22pulaaniusewebuse 220x290

Mukuume obumu musobole okwekulaakulanya...

Ab'ekika ky'Engabi beetaaga obukadde 13o okuzimba ekiggwa kyabwe