TOP

Mangat ayongedde ebbugumu mu z'e Masaka

By Nicholas Kalyango

Added 13th November 2017

Mangat ayongedde ebbugumu mu z'e Masaka

Man1 703x422

Jas Mangat ng'ali ku mmotoka ye ey'ekika Mitsubishi Evo 10

EBBUGUMU lyeyongedde mu mpaka za Oryx Energies Heart Beat MOSAC Rally ezigenda okuggala Calendar y’omwaka guno, nnantameggwa wa 2012, 2013 ne 2016, Jas Mangat bw’akakasizza okw'etaba mu mpaka zino.

Mangat yasemba okuzeetabamu mu Calendar y’omwaka guno bwe yali eggulwawo mu January e Mbarara.

Mu mpaka za wiikendi eno, Mangat agenda kuvuga ne Olivier Meganck ng’ono gwe yatandika naye mu 2005 ng’omusomi wa maapu mu 2005 nga bali mu mmotoka ekika kya VW Golf. 

“Wadde sirina mukisa guwangula ngule ya mwaka guno, nzize kulaga bawagizi  nti nkyaliwo era nkyasobola okukaabya beenvuganya nabo,” Mangat bw'ategeezezza oluvannyuma lw’okuggyayo empapula z’okwewandiisa.

Empaka za Oryx Energies Heart Beat MOSAC Rally, zaakubeerawo wiikendi eno mu bitundu by’e Masaka, Kayabwe n’e Mpigi.

Engule y’omwaka guno, eri wakati wa Christakis Fitidis, Duncan Mubiru ‘Kikankane’ ne Ronald Ssebuguzi. Abavuzi 47 be bakakakasa okwetaba mu mpaka zino

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Kabaka 220x290

Mayiga atongozza olukiiko olutegeka...

KATIKKIRO Charles Peter Mayiga alagidde akakiiko akagenda okutegeka olunaku lw’abantu ba Kabaka ababeera ebweru...

Lab1 220x290

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye...

Omusolo gutabudde aba Takisi bakubaganye katono battingane!

Mariach5 220x290

MC Mariach akiggadde! Kabiite we...

MC Mariach akiggadde! Kabiite we Mirembe Lydia Bogere amwanjudde mu bakadde be

Kaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUTAANO AFULUMYE...

Tukulaze ebyakoleddwa okumatiza amagye okuyimbula muka Mugabe. Ate agenda okusikira Mugabe bamulagidde annyonnyole...

Mak1 220x290

Buganda esiimye emirimu gya AD...

Obwakabaka bwa Buganda busiimye emirimu gya AD Lubowa