TOP

Katumwa awagidde team ya Vision group

By Samson Ssemakadde

Added 14th November 2017

Katumwa awagidde team ya Vision group

Kat1 703x422

David Katumwa ng'akwasa omukungu wa Ttimu ya Vision Group omupiira

DAVID Katumwa ayongedde ebbugumu mu nkambi ya New Vision FC bwagiwadde emijoozi gye bagenda okukozesa mu mpaka za Uganda Cup ez’omwaka guno.

Katumwa agamba, ‘nsooka kwebaza ba Vision Group abafulumya olupapula lwa Bukedde kuba nvudde wala nga nkolagana nabo mu ssente ensaamusaamu era kyekimpalirizza okusigala nga nkolagana nabo.

Ensonga endala yeyokukuuma omubiri kuba abakozi baayo bakola nnyo okulaba nga bafulumya amawulire wabula nga tebatera kufuna budde bukola duyiro, kati mu kusamba omupiira kigenda kubayamba okusala omugejjo, amasavu, n’okukendeeza situleesi.

Asembyeyo nga yeebaza kampuni eno obutakoma ku kusitula bizineensi z’abantu zokka, wabula n’okugyayo amaloboozi gaabo abanyigirizibwa mungeri emu oba endala.  

Omujoozi guno Katumwa yagukwasizza omu kubakungu ba Vision Group Robert Makanga bwe babadde ku duuka lye ku Katumwa Sports Centre eritunda ebikozesebwa mu by’emizannyo erisangibwa ku Ben Kiwanuka Street.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Gaba 220x290

BUKEDDE W’OLWOKUNA ALEESE GANO...

Museveni afulumizza pulaani kakongoliro ku byokwerinda era n’alangirira nti eby’okutemula Kaweesi y’abyekwatiddemu....

Goba1 220x290

'Abasika mukomye okwezza ebintu...

Paasita Luciano Ronald Kivumbi owa Real Liberty Church, Luteete awadde amagezi abasika okukomya okweza ebintu...

Pala3 220x290

Muloope Abapoliisi abeenyigira...

PULEZIDENTI Museveni agambye nti obumu ku bumenyi bw’amateeka obugenda maaso mu ggwanga bwenyigiddwamu n’abamu...

Bika 220x290

UCU erwanira Women's Cup

UCU Lady Cardinals erina omukisa okuzza ku nsimbi ze yasaasaanya okukansa bassita ba ttiimu y’eggwanga abasatu,...

Twala 220x290

Eng'onge eri ku Ngabo

BAZZUKULU ba Nakigoye Abekinyomo, baakamudde aba Kisoro (Abehhonge), entuuyo mu mpaka z'emipiira gy’Ebika by'Abaganda...