TOP

FUFA ebuliddwa ttiimu ekiikirira Uganda mu mpaka za CAF

By Musasi wa Bukedde

Added 14th November 2017

FUFA amagezi gagyesibye oluvannyuma lw’okubulwa ttiimu eneekiikira Uganda mu mpaka za Total CAF Confederations Cup ezitandika mu February omwaka ogujja.

Dsc0158 703x422

Omwogezi wa FUFA, Ahmed Hussien

Paidha Black Angels, eya Big League nga yakubwa KCCA ku fayinolo ya Uganda Cup ye yali erina okukiikirira Uganda mu mpaka zino kyokka yategeezezza FUFA nga bw’eremereddwa olw’obutaba na ssente.

Kino olwakitegedde, omukisa FUFA yaguwadde Express eyawandukira ku semi wabula nayo ssente ne zigiggyamu.

Oluvannyuma FUFA yawandiikidde SC Villa ne Vipers okulaba oba nga kuliko eyeetegese okukiika mu kifo kino kyokka Villa yabazzeemu ng’ebategeeza nga bw’etajja kusobola.

Villa, yamalira mu kyakubiri mu liigi era yabadde n’omukisa okutwala ekifo kino.

Vipers, eyakwata ekyokusatu mu liigi, y’ekyalinawo omukisa okuwanika bendera ya Uganda singa eneetuukiriza ebyetaagisa era erina okusalawo mu bbanga lya nnaku 15 ezaatandise ku Lwokutaano lwa wiiki ewedde.

Ttiimu okukiika, esooka kuwaayo doola 10,500 (eza Uganda obukadde 37 n’emitwalo 80) ng’omusingo okulaga nti erina obusobozi obukiika n’emalako empaka.

Akulira emirimu mu Villa, Valley Mugwanya yategeezezza nti wadde bandiyagadde okukozesa omukisa guno, kyokka obudde FUFA bwe yabawadde okwetegekeramu butono kuba balina okusooka okutuuza olukiiko nga bo abakulira ttiimu n’abawagizi beegeyeemu oba nga balina obusobozi obukiika.

“Ebbaluwa twagifunye Lwakutaano nga baagala ebyetaago byonna tubibawe mu wiiki bbiri, ekintu ekizibu okutuukiriza,” Mugwanya bwe yategeezezza.

George William Mulindwa, ssentebe wa Vipers, yategeezezza nti ensonga zino tazibaddemu nnyo kuba alina emirimu mingi kyokka nabo bagenda kutuula beegeyeemu ne nnannyini ttiimu eno, Lawrence Mulindwa balabe kye banaasalawo.

KCCA, eyawangula liigi, y’egenda okukiika mu Champions League.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Seb2 220x290

Museveni asiimye Bannaddiini aboogera...

Museveni asiimye Bannaddiini aboogera ku birungi bya NRM

Whatsappimage20181214at173512 220x290

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza...

SC Villa etimpudde Express FC n'ennyogoza abawagizi baayo mu kisaawe e Namboole omupiira gye guyindidde!

Mosesmakoyaniowakibogakuddyongattunkaneambrosenaturindaowantinda 220x290

Kiboga ewaga mu Big League

TTIIMU ya Kiboga FC eyaakesogga Big League eremedde ku Proline FC okugisuuza entikko y’ekibinja kya Rwenzori ekitaddewo...

Hib1 220x290

Omulamuzi atabukidde abakakiiko...

Omulamuzi atabukidde abakakiiko k'ebyettaka e Lwengo

Reb2 220x290

Maneja w’ebbaala ya Casablanca...

Maneja w’ebbaala ya Casablanca asindikiddwa ku limanda