TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Nyamitobora eya Big League erwanirira likodi yaayo

Nyamitobora eya Big League erwanirira likodi yaayo

By Musasi wa Bukedde

Added 16th November 2017

TTIIMU ya Nyamityobora FC mu Big League ezze kukuuma likodi yaayo gy’etaddewo sizoni eno ey’okuba nga tannakubwamu mupiira gwonna mu sizoni eno.

Ttiimuyanyamitybora 703x422

Ttiimu ya Nyamityobora FC. ekif: GERALD KIKULWE

Leero (Lwakuna) mu Big League
Kireka UTD FC- Synergy FC,Namboole out
Bumate UTD FC – Simba FC,Bundibujjo
Kira UTD FC – Kansai plascon,Namugongo
Airtel Kitara – Suncity FC, Hoima
Ntinda  UTD FC – Nyamityobora FC, Kamwokya
G.Masaka FC – Kabale Sharp, Masaka Rec
Agape SS FC – Kamuli Park, Agape
Lira UTD FC – Vura FC, Lango
Amuka Bright Stars FC – Busia Fisheries FC, Lira
Ndejje Univ. FC – Kataka FC, Luwero
Kyetume FC – JMC Hippos, Nakisunga
Bukedea TC FC – Doves all Stars FC, Bukedea

Oluvannyuma lw’okumegga Kira United FC  wiiki ewedde ne ggoolo 2-0, leero (lwakuna) bakyalidde  Ntinda United FC e Kamwokya n’ekigendererwa eky’okufuna obubonero 3 oba okusigaza Likodi yaabwe.

“ Mukama akyali ku luuyi lwaffe nti tetunakubwamu ekiwadde ttiimu endala okweswanta okutusuuza likodi eno naye nnina obukakafu bwe twakubye Kira FC nti n’endala tugenda kuziyitako, era leero twagala bubonero 3 oba okusigaza  likodi, tetugenda kukkiriza kufiirwa byombi, bwe yaweze Alex Isabirye atendeka nyamityobora.

Ntinda United eri waka era omutendesi Peter Musoke agamba nti nabo nga beesigama ku buwanguzi bwe baafuna wiiki ewedde bwe baakubira Kabale Sharp FC ewaayo ggoolo 1-0, tebagenda kuganya jjoogo lya Nyamityobora ly’ereese sizoni eno.

Nyamityobora eri mu kifo kya 3 n’obubonero 13 ate Ntinda United eri mu kya 4 n’obubonero 12 emabega wa Airtel Kitara FC nayo etanakubwamu ng’ekulembeddemu n’obubonero 17.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Pi3 220x290

Apass ajereze Kenzo ne Fik Fameica....

Apass ne Eddy Kenzo bawakana ani asinga okwesala emisono wabaluseewo olutalo lw'ebigambo

Sev2 220x290

Pulezidenti asisinkanye abagagga...

Pulezidenti asisinkanye abagagga abalwanira ebizimbe mu Kampala

Muh1 220x290

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo...

Abasuubuzi basattira olw’obukwakkulizo Muhangi bw’abataddeko

Hop2 220x290

Abayizi boogedde eyabookezza

Abayizi boogedde eyabookezza

Bah3 220x290

Don Bahat akomyewo ku maapu.

Don Bahat awangudde engule mu mpaka za baseerebu e South Africa ne yewaana “abangoba bakongojja…”