TOP

Ensonga 7 ezimazeewo ebbugumu mu gy'Ebika

By Musasi wa Bukedde

Added 25th November 2017

FAYINOLO y’Ebika by'Abaganda ey’omwaka guno ekomekkerezebwa leero (Lwamukaaga) ku kisaawe ky'e Bukalasa e Bulemeezi. Bannabyamizannyo bangi beebuuza ebbugumu eryalinga mu mpaka zino mu myaka gy'e 90 gye lyadda. MOSES KIGONGO ne JOSEPH ZZIWA bakuleetede ezimu ku nsonga zino.

Mata 703x422

Peter Lwasa omu ku bazannyi b'Ente abasuubirwa okwetooloolerwako ennumba za ttiimu eno (wansi) ng'attunka ne Yayo Lutimba owa ttiimu y'Abalangira ku fayinolo y'omwaka oguwedde e Bugerere.

Entalo mu bakulembeze b’Ebika

Entalo zaawudde mu bakulembeze, gye biggweera nga tewali asobola kukunga bantu kugenda kulaba Bika byabwe nga bizannya. Omwaka oguwedde Ekkobe teryetabye mu mpaka olw’ensonga ezeekuusa ku mivuyo gy’obukulembeze.

Kalenda y’ebyemizannyo

Kalenda y’ebyemizannyo gya Buganda ekolebwa mu kiseera ekirimu liigi, sso nga yandibaddewo nga liigi ya 'Super' ewedde. Kino kireetawo okulwanira ebisaawe ebitono, okulwanira abazannyi ba kiraabu za 'Super' n’okwawula mu bawagizi.

Fayinolo okulwawo

Okumala sizoni bbiri, fayinolo y’empaka zino ebadde eyongezebwayo okumala kumpi emyezi ebiri.

Ey'omwaka guno ezannyiddwa nga wayiseewo emyezi esatu kuba semi yazannyibwa mu August. Kino kimalawo ebbugumu n’ennyonta y’okulaba omuwanguzi.

ABAVUJJIRIZI

Ebbula ly’abavujjirizi liviiriddeko ttiimu ez'enjawulo obutaba na birabo bisikiriza bazannyi kuzannya mupiira gwa kufiirawo, sso nga n'oluusi ssente ezisuubizibwa omuwanguzi w'Engabo zirwayo.

Abakungu balumiriza nti akakiiko k’ebyemizannyo kassa nnyo amaanyi mu mpaka z’Amasaza ne bazifunira n’abavujjirizi, Ebika ne bitalowoozebwako, ekigisse.

Emipiira gy’ebweru

Emipiira gy’ebweru, nga Premier gisse nnyo ebbugumu mu mipiira gy’eggwanga, nga n'egyEbika mw'ogitwalidde, kuba abawagizi naddala abavubuka gye bettanira.

Embeera eno teyaliiwo emabega kubanga abawagizi abasinga baanyumirwanga okulaba ttiimu zaabwe kyokka ensangi zino batinkiza na ManU, Arsenal n'endala.

Ebisaawe bikyali bitono;

Empaka zisanga okusoomoozebwa olw'ebbula ly'ebisaawe, era waliwo n’emipiira egimu egiyiise olw’embeera eno. Kino kiwalirizza akakiiko akategesi okuteeka emipiira egimu mu bisaawe ng'ekya Ssendi ebitatuukana na mutindo, ekimazeemu abawagizi amaanyi.

EBIROWOOZO OKUSUULIBWA EBBALI

Ebirowoozo ebireetebwa abakugu abaddukanya ttiimu z’Ebika ebimu tebissibwa mu nkola. Abakungu abamu balumiriza nga bwe bawaayo ebirowoozo ebiyinza okubbulula emipiira gy'Ebika, kyokka tebaanya kibituseeko kubanga tebissibwa mu nkola.

ABAKUNGU KY E BAGAMBA

Omutaka Fredrick Kasibante Kayiira Gajuule (omukulu w’olukiiko lw’Abataka ba Buganda; Kituufu wabaddewo okusoomoozebwa okutonotono, ng’entalo mu bika, kyokka ensonga eno ekoleddwaako kubanga emisango egibadde gyetuumye mu kkooti ya Kisekwa gisaliddwa.

Noolwekyo nkubiriza bazzukulu ba Buganda okuddayo mu bika bakwasizeeko ababiddukanya. David Kalibbala (muwandiisi w'akakiiko k'ebika); Wadde ebisaawe kibadde kizibu mu mpaka, ku luno tugezezzaako okugonjoola ensonga eno era twaweebwa olukusa okweyambisa ekisaawe ky'e Wankulukuku okutuusa empaka lwe zikomekkerezeddwa.

Tusuubira n'okukola ku nsonga endala. Henry ssekabembe (Minisiya w'emizannyo e Mmengo); Kyannaku nti ffe ng'Abaganda abakwatibwako ensonga z’ennono ate twesuuliddeyo ogwa nnaggamba, ate ne twebuuza lwaki empaka temukyali bbugumu.

Kati njagala ombuulireyo omukulu w'akasolya oba Owesigga eyavuddeyo ku mikutu gy’empulizaganya n'akunga bazzukulu be okweyiwa mu ssaza ly'e Bulemeezi okulaba fayinolo Wabula twateekawo pulaani eyatongozeddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga n'ekigendererwa ky'okukulaakulanya emizannyo gyonna mu Buganda, era ensonga ya kalenda y’ebyemizannyo twagigonjodde bwe twalambise engeri ebintu byonna ebigenda okukolebwa mu mwaka.

Ku ky'abavujjirizi, twatuukiridde kkampuni ez'enjawulo era essaawa yonna bagenda kutwegattako, ate ku nsonga y'ebisaawe, twayisizza ekiteeso ekya buli Ssaza oba Ggombolola okutuwaayo yiika z'ettaka ssatu okukulaakulanyizaako ebyemizannyo.

ABA TTIIMU ZA KIRAABU BOOGEDDE

We lwazibidde ku Lwokuna ng'abakungu b'Ebika ebyatuuse ku fayinolo bayomba olwa kiraabu za 'Super' okulemera abazannyi baazo. Kuno kuliko Abeffumbe; Hood Kaweesi (Police), Derrick Nsibambi (KCCA) ne Solomon Walusimbi (Maroons) wamu n'abe Nte; Farouq Katongole (Bright Stars) ne Henry Katongole (Villa).

Bukedde yatuukiridde abakungu ba kiraabu za 'Super' ne bategeeza;

Abdallah Mubiru (atendeka Police FC); Tewali mukungu wa ttiimu ya kika yenna yantuukiridde ng’ansaba omuzannyi, sso nga ndi mwetegfu okubawaayo babayambe mu nteekateeka zaabwe zonna.

Asafu Mwebaza (wa Maroons); Tewali yantuukiridde ku nsonga ya Walusimbi, naye bwe baba bamwetaaga nkakasa bajja kumutuukirira oba okuntegeezako tulabe ekyokukola.

Valley Mugwanya (akulira emirimu mu Villa; Twabadde n'omupiira gwa liigi ne Express ku Lwokutaano nga tetuyinza kweggyako Katongole nga tugenda kuzannya emu ku ttiimu bwe tusinga okubeera n'embiranye.

Abakungu ba ttiimu y’Ente batusaasire mu nsonga eyo.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Uganda4 220x290

Onyango n'abawagizi basiimye ebitone...

Bayo, yazannye eddakiika 90 so nga Okello yazannyeko 25 oluvannyuma lw’okuyingira mu kifo kya Kizito Luwagga.

Villapolice04 220x290

Villa ekaabirizza Onduparaka omwayo...

Ggoolo ya Emma Kalyowa mu ddakiika eyookutaano, Faizol Muwawu (14) ne Fahad Bardiro (91), ze ziyambye Villa okuwangula...

Capture 220x290

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira...

KCCA eggadde woteeri: Babadde bafumbira emmere mu kaabuyonjo

Capture 220x290

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde...

Abatuuze beekoledde oluguudo: Bakukkulumidde abakulembeze obutabayamba

Capture 220x290

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira...

Ssaabavvulu Balaamu akubuulira gyenvudde we: 'Maama wange yatundanga waragi okunsomesa'