TOP

Ente yeddizza engabo y'ebika bya Buganda

By Silvano Kibuuka

Added 26th November 2017

Ente yeddizza engabo mu mupiira gw’Ebika mu fayinolo ekomekkerezeddwa ku kisaawe kya Bukalasa Agricultural College nga Kabaka wa Buganda omupiira guno agwoose buliro era nga y’akwasizza abawanguzi engabo.

Bikafinals2017nov25ntewinskabaka1 703x422

Abeddira Ente nga bajaganya olw'okuwangula engabo y'ebika bya Buganda. Baakubye Effumbe ggoolo 1-0. EBIFAANANYI BYA SILVANO KIBUUKA

Bya Silvano Kibuuka

Ebivudde mu mpaka z’Ebika 2017:

Ente 1 – 0 Ffumbe

Owokusatu:

Lugave 1 – 0 Mpindi

Okubaka:

Nyonyi Nyange 50 – 34 Ngabi Nsamba

Ggoolo y’Ente eteekeddwa Umar Kasumba owa SC Villa mu ddakiika eya 15 wabula ab’Effumbe ne batasanyukira ddiifiri Ali Bakasambe nga bagamba nti yabaddemu kyekubiira okubamma peneti enfunda bbiri.

 

Omutendesi w’Ente, Deo Kasana agambye nti ttiimu ye ekyawangula Engabo ebo olw’okwewaayo kw’Ekika, abazannyi abamanyirivu n’ebirala.

Eky’okubaka kitwaliddwa Enyonyi Enyange bw’ekubye Engabi Ensamba ggoolo 50-34 nga baasinze kubafootola mu kitundu ekyokuna.

Enyonyi Enyange ejaganyirizza obuwanguzi ng’omwaka oguwedde yakubwa Engeye ku fayinolo.

Kabaka Ronald Muwanda Mutebi bw’abadde akwasa abawanguzi ebirabo alabudde Obuganda n’eggwanga lyonna naddala abavubuka okwewala obulwadde bwa mukenenya bw’agambye nti kati buzzeemu okujoonyesa eggwanga.

 

 

Agambye nti abavubuka ebituundi 10 kubuli 100 be balina obulwadde buno n’abakubiriza okujjumbira okwekebeza, obutasasaanya bulwadde awamu n’okujjumbira ebiragiro by’abasawo.

Ebika 44 bye byavuganyizza omwaka guno mu kusamba omupiira mu basajja.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Enanga1 220x290

Taata wa Enanga atuuyanye ku by’ettaka...

TAATA w’omwogezi wa poliisi mu ggwanga, Fred Enanga abadde mu kaseera kazibu ng’annyonnyola engeri ye ne mutabani...

Lukwago 220x290

‘Sasula obukadde 50 oba ogende...

Sandra Katebaralwe, mukyala wa Paasita David Ngabo eyacaaka ennyo olw’okusabira FDC ng’alumba gavumenti ye yadduka...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde...

Omukyala w'olubuto bamulagajjalidde

Taxi5 220x290

Poliisi emukutte awambye abaana...

POLIISI y’e Bujuuko etaayizza omusajja agambibwa okuwamba abaana b’essomero n’emussa ku mpingu. Yeewozezzaako nti...

M71 220x290

Museveni awadde Sabiiti ekiragiro...

PULEZIDENTI Museveni awadde amyuka omuduumizi wa poliisi mu ggwanga, Maj. Gen. Sabiiti Muzeeyi, ennaku bbiri aveeyo...