TOP
  • Home
  • Mupiira
  • Cranes etandika Lwakusatu okwetegekera CECAFA

Cranes etandika Lwakusatu okwetegekera CECAFA

By Musasi wa Bukedde

Added 28th November 2017

OMUTENDESI wa Cranes, Moses Basena ayise abazannyi 26 batandike okutendekebwa ku Lwokusatu nga beetegekera empaka z’omupiira gw’amawanga g’Obuvanjuba n’amasekkati ga Africa – CECAFA ez’omwaka guno.

Cranes1 703x422

Empaka za CECAFA Senior Challenge Cup 2017 ezitegekeddwa e Kenya omulundi guno zitandika wiiki ejja era nga zaakuyindira wiiki bbiri okuva nga December 3 zikomekkerezebwe nga 17, December 2017.

Amawanga 10 nga kuliko 8 okuva mu ligyoni ya CECAFA ge gagenda okwetaba mu mpaka zino geegatibweko Libya ne Zimbabwe agaayitiddwa okwetabamu ng’abagenyi.

Uganda be bakyampiyoni b’empaka zino ze baawangula mu 2015 lwe zaasembayo okutegekebwa Ethiopia bali mu kibinja B ne Zimbabwe, Burundi, Ethiopia ne South Sudan.

Ekibinja B kirimu abategesi aba Kenya, Rwanda, Tanzania, Zanzibar ne Libya.

Abazannyi abayitiddwa;

Abakwasi ba ggoolo;

Goal keepers: Isma Watenga (Vipers SC), Benjamin Ochan (KCCA FC), Nichoals Sebwato (Onduparaka FC) ne Ikara Tom (Kirinya Jinja SS)

Abazannyi abalala kuliko;

Wadada Nicholas (Vipers SC), Kiyemba Ibrahim (Sc Villa Jogoo), Isaac Muleme (KCCA FC), Aggrey Madoi (Police FC), Juuko Murushid Simba-Tanzania), Timothy Awanyi (KCCA FC), Savio Kabugo (Proline FC), Bernard Muwanga (Sc Villa Jogoo), Tom Masiko (Vipers SC), Mutyaba Muzamiru (KCCA FC), Tadeo Lwanga (Vipers SC), Albert Mugisa (Police FC), Karisa Milton (Vipers SC), Mucureezi Paul (KCCA FC), Allan Kateregga (KCCA FC), Allan Kyambadde (Sc Villa Jogoo), Nelson Senkatuka (Bright Stars FC), Derick Nsibambi (KCCA FC), Hood Kaweesa (Police FC), Batte Seif (Bright Stars FC), Saddam Juma (KCCA FC), Daniel Isiagi (Proline FC), Basse Methodious (Mbarara City FC).

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Mknwc1 220x290

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza...

Yaaya gwe baagobye ku mulimu atambuzza bigere okuva e Ntebe okudda e Kamuli ne bbebi we: Yakomye Mukono n'alaajanira...

Kt1 220x290

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi...

Poliisi ekoze ekikwekweto ku zi loogi n'egwa ku basinda omukwano

Cap1 220x290

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza...

AbaKulembeze mu kalungu batuuzizza olukiiko okutema empenda z'okulwanyisa COVID-19

Pop13 220x290

Poliisi etandise okunoonyereza...

Poliisi etandise okunoonyereza ku musirikale waayo eyakubye abaana be amasasi

Kafeera 220x290

Leero luno!

NG’ENSI eri ku bunkenke bw’ekirwadde kya Coronavirus, abamu ku Bannayuganda batandise okubiteekamu omuzannyo bo...