TOP
  • Home
  • Ebyemizannyo
  • MTN eyanjudde obukadde 600 ezaavudde mu misinde gya 'Marathon'

MTN eyanjudde obukadde 600 ezaavudde mu misinde gya 'Marathon'

By Moses Kigongo

Added 30th November 2017

SSENTE obukadde 600 ezaavudde mu misinde gya ‘MTN Kampala Marathon’ zaakugabanyizibwa mu miramwa ebiri okwaddukirwa emisinde gino.

Mtn 703x422

Okuva ku kkono; Vanhelleputte, Mweheire Kabushenga ne Olivier Prentout akulira bakitunzi ba MTN

Kuno kuliko okudduukirira bannakazadde b’eggwanga mu malwaliro e Komamboga ne Kiswa wamu n’okugulira abayizi amabaati agatalwaza kkansa.

Akulira kkampuni ya MTN, Wim Vanhelleputte, ye yategeezezza bino, bwe yabadde ayanjula ensimbi ezaavudde mu misinde gy’omwaka guno.

“Twakung'aanyizza obukadde 600 okuva mu Bannayuganda era ebitundu 56 bigenda kussibwa ku mulamwa gw’okudduukirira bannakazadde ate 44 ziweebwe abayizi abali mu masomero agalina amabaati ga asbestos, agalwaza kkansa,” Vanhelleputte bwe yategeezezza ku mukolo ogwabadde kizimbe kya MTN Towers mu Kampala.

Amasomero agagenda okuganyurwa kuliko; Buganda Road, Kibuli Demonstration, Bat Valley, Nakivubo Settlement, Kololo SS ne Old Kampala SS.

Amalala kuliko; Kibuli SS, Mengo SS, Nabisunsa Girls, Makerere College, Kyambogo SS, ne Katwe Martyrs.

Ye Robert Kabushenga, akulira Vision Group, emu ku kkampuni ezaawagidde emisinde gino yeebazizza MTN ne Bannayuganda okudduukirira emiramwa gy’omulundi guno.

“ Mbasaba mulowooze ku ky’okussa emisinde gino ku ddaala ly’ensi yonna, abantu abalala abalina obwetaavu nabo bagiganyulwemu,” Kabushenga bwe yategeezezza.

Kabushenga yawagiddwa kkampunu endala ezaawagidde emisinde gino, okwabadde; Patrick Mweheire eyakiikiridde Stanbic Bank, Stanley Chyn akulira kkampuni ya Huawei, Van Conrad okuva mu Rwenzori ne Ambrose Atwoko, omumyuka w’akulira ebyenjigiriza mu KCCA.

Emisinde gyasimbula ku kisaawe e Kololo nga November 19.

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

Wab1 220x290

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa...

Obukodyo bw’okozesa okulwanyisa obuggya mu baana

Mal1 220x290

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza...

Malokweza ayogedde ebimuwangaazizza emyaka 90

Kad1 220x290

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu...

Maama wa Patrick Kaddu musanyufu olw'omwana we okuteeba ggoolo eyatutte Cranes mu AFCON

Ken1 220x290

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa...

Ssentebe w'ekinnawattaka agobeddwa ku bukulembeze mu bunnambiro!

Seb2 220x290

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya...

Ababaka bakomezzaawo eby'enfa ya Nebanda