TOP

Shaban yeegasse ku Hippos enkambi n'eggumira

By Musasi wa Bukedde

Added 1st December 2017

ENKAMBI ya ttiimu y'eggwanga ey'abatasussa myaka 20 (Hippos) egumidde, oluvannyuma lw’abazannyi abalina obumanyirivu ogwebeegattako nga beetegekera empaka za CASAFA ezigenda okuyindira e Zambia okuva nga 6 okutuuka nga 16 December.

Shaban2 703x422

Kapiteeni wa Hippos Shaban Muhammad ng'ali mu kutendekebwa ne banne

Bya ISMAIL MULANGWA

Enkambi ya Hippos  yeeyongeddemu ebbugumu oluvannyuma lwa kapiteeni waayo Shaban Muhammad, Allan Okello, Mustafa Kizza okubeegatttako mu kutendekebwa kwa eggulo ku Lwokuna saako  ne Azake Luboyera, azannyira mu kiraabu ya Ottawa Fury e Canada wamu ne Victor Matovu  azannyira mu Aspire e Qatar.

Matia Lule mugumu kuba abazannyi bano bonna yali abalezeeko mu ngalo ze era nga bazannyira wamu nga ekitole.

Ttiimu esitula ku Mmande nga 4/12/2017, wabula nga tennasitula yaakuzannya omupiira ne ttiimu egenda okuzannya CECAFA leero ku Lwokutaano ku ssaawa 10 ez'olweggulo mu kisaawe e Namboole.

 

More From The Author

Emboozi z’omuwandiisi endala

Emboozi endala

59148f0c79e3455bb2de95a2f1b5a89d 220x290

Ogwa Bajjo okunyiiza Museveni gugobeddwa...

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Stella Amabirisi agobye omusango ogubadde guvunaanwa omutegesi w'ebivvulu Andrew...

Top33 220x290

Aba FMU batongozza ez'oku ssande...

Aba FMU batongozza ez'oku ssande

Babe 220x290

Eyannimba okuba omuserikale anneefuulidde....

Nsobeddwa oluvannyuma lw’omusajja eyannimba nti muserikale wa tulafiki ku poliisi y’e Kanyanya okunfunyisa olubuto...

Funa 220x290

Mayinja ayogedde ku by'okufuna...

Mayinja bwe yatuukiriddwa yasoose kusambajja bimwogerwako nti yafuna ssente okulwanyisa People Power era n’ategeeza...

Dav11 220x290

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde...

Minisita w'ebyemizannyo asanyukidde abazadde abatatuulira bitone by'abaana